Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
Olowooza . . .
-
mbeera eri mu mutima?
-
lugero bugero?
-
gavumenti eri mu ggulu?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa.”—Danyeri 2:44, Enkyusa ey’Ensi Empya.
“Omwana ow’obulenzi atuweereddwa; era gavumenti eribeera ku kibegaabega kye.”—Isaaya 9:6; obugambo obuli wansi.
OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO
-
Ojja kuganyulwa nnyo ng’ofugibwa gavumenti ey’obutuukirivu.—Isaaya 48:17, 18.
-
Mu nsi empya, ojja kuba mu bulamu obutuukiridde era obw’essanyu.—Okubikkulirwa 21:3, 4.
TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA
Lwa nsonga nga bbiri:
-
Yesu yayogera ku ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukola. Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje, era Katonda by’ayagala bikolebwe ku nsi. (Matayo 6:9, 10) Yesu yalaga engeri Katonda gy’anaddamu essaala eyo.
Yesu bwe yali ku nsi, yaliisa abaali balumwa enjala, yawonya abalwadde, era yazuukiza abafu! (Matayo 15:29-38; Yokaana 11:38-44) Olw’okuba Yesu ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, bye yakola biraga ebyo by’ajja okukolera abantu ng’afuga ensi.—Okubikkulirwa 11:15.
-
Ebiriwo mu nsi biraga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okutandika okufuga ensi. Yesu yagamba nti ng’Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuleeta emirembe ku nsi, ensi yandibaddemu entalo, enjala, ne musisi ku kigero ekitabangawo.—Matayo 24:3, 7.
Ebizibu ebyo weebiri. N’olwekyo, tusobola okuba abakakafu nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuggyawo ebizibu byonna.
KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO
Obulamu buliba butya nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda?
Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ZABBULI 37:29 ne ISAAYA 65:21-23.