Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa
Oyinza okuba nga wali otulabyeko nga tubuulira. Era oyinza okuba nga wali osomyeko ebitukwatako mu mawulire oba nga wali owulidde abantu abalala nga balina bye batwogerako. Naye ddala omanyi bulungi ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa?
Era laba: Biki Abajulirwa ba Yakuwa bye Bakkiriza?
Bye Tukkiririzaamu ne Bye Tukola
Ebibuuzo Abantu Bye Batera Okwebuuza ku Bajulirwa ba Yakuwa
Funa eby’okuddamu mu bibuuzo abantu bye batera okwebuuza.
Ebyokulabirako Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa
Yiga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bafuba okulaba nti bye balowooza, bye boogera ne bye bakola byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, Bayibuli.
Enteekateeka ey'Okuyigirizibwa Bayibuli ku Bwereere
Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?—vidiyo Empanvuko
Bayibuli eyambye abantu bangi nnyo okwetooloola ensi yonna okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye beebuuza. Naawe wandyagadde okumanya Bayibuli ky’eyigiriza?
Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?
Okwetooloola ensi yonna, Abajulirwa ba Yakuwa bamanyiddwa ng’abantu abayigiriza abalala Bayibuli ku bwereere. Laba engeri gye bakikolamu.
Saba Omuntu Akukyalire
Mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekikwata ku Bayibuli oba yiga ebisingawo ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa.
Enkuŋŋaana n'Ebyaliwo
Biki Ebikolebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka?
Laba bwe kifaanana munda.
Baawo mu Nkuŋŋaana Zaffe
Manya ebikwata ku nkuŋŋaana zaffe. Noonya ekifo ekikuli okumpi awabeera enkuŋŋaana zaffe.
Okujjukira Okufa kwa Yesu
Buli mwaka, abantu bukadde na bukadde bakuŋŋaana okujjukira okufa kwa Yesu. Tukwaniriza okubaawo omanye engeri omukolo guno omukulu ennyo gye gukukwatako.
Ofiisi z'Amatabi
Abajulirwa ba Yakuwa Baggya wa Ssente ze Bakozesa mu Mulimu Gwabwe ogw’Okubuulira?
Twewala okukozesa enkola ezikozesebwa mu makanisa mangi.
Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Abajulirwa ba Yakuwa basangibwa mu nsi yonna, bava mu bika eby’enjawulo era ne mu mawanga ga njawulo. Kiki ekiyambye ekibiina kino ekinene okuba obumu?
Ebikwata ku mulimu gwaffe mu Nsi Yonna
-
Ensi Omuli Abajulirwa ba Yakuwa—239
-
Abajulirwa ba Yakuwa—8,816,562
-
Abaayigirizibwa Bayibuli—7,281,212
-
Abaaliwo ku Kijjukizo—20,461,767
-
Ebibiina—118,177