Omuyizi wa Bayibuli Omu Yavaamu Abayizi Bangi
Marta, Omujulirwa wa Yakuwa abeera mu Guatemala, ayiga olulimi oluyitibwa Olukeci asobole okubuulira abantu aboogera olulimi olwo. Lumu yalaba omusajja ng’ava ku ddwaliro. Bwe yamulaba, yateebereza nti omusajja oyo ayinza okuba ng’ava mu kitundu eky’omu nsozi abantu aboogera olulimi olwo gye babeera, era Abajulirwa ba Yakuwa gye batatera kubuulira. Marta yatuukirira omusajja oyo n’ayogera naye mu Lukeci olutonotono lwe yali amanyi.
Marta yabuuza omusajja oyo obanga yandyagadde okuyigirizibwa Bayibuli. Omusajja oyo yamugamba nti yandyagadde okuyiga Bayibuli, naye nti talina ssente. Marta yamugamba nti Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu Bayibuli ku bwereere. Ate era yamugamba nti basobola okuyiga nga bakozesa essimu era nti n’ab’omu maka ge bonna basobola okumwegattako ne bayigira wamu. Omusajja oyo yakkiriza. Olw’okuba yali asobola okwogera n’okusoma Olusipanisi, Marta yamuwa Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya eri mu Lusipanisi. Ate era yamuwa n’akatabo akeesigamiziddwa ku Bayibuli akayitibwa Kiki Ddala Baibuli ky’Eyigiriza? akali mu lulimi lwe. Wiiki eyaddirira, Marta yatandika okuyigiriza omusajja oyo Bayibuli, ne mukyala we era n’abaana baabwe babiri ng’akozesa essimu. Baasomanga emirundi ebiri mu wiiki. Marta agamba nti: “Olw’okuba nnali simanyi bulungi Lukeci, twasomanga mu Lusipanisi ng’omusajja bw’ataputira mukyala we. Abaana baabwe bo baali bamanyi Olusipanisi.”
Omusajja oyo yali paasita mu kkanisa ye. Yatandika okuyigiriza abantu b’omu kkanisa ye ebintu bye yali ayiga mu Bayibuli. Abantu abo baayagala nnyo bye yabayigiriza era ne bamubuuza gye yali aggya enjigiriza ezo empya. Bwe yababuulira nti yali ayiga Bayibuli, baatandika okumwegattako, omu ku omu. Mu kiseera kitono, abantu nga 15 baamwegattangako buli wiiki nga bayiga Bayibuli ne Marta. Oluvannyuma lw’ekiseera, baateekanga omuzindaalo okumpi n’essimu buli omu asobole okuwulira.
Marta bwe yabuulirako abakadde b’omu kibiina kye ku bantu abo be yali ayigiriza Bayibuli, omu ku bo yagenda ku kyalo gye baali babeera. Yabayita okubaawo ku lukuŋŋaana olwali lugenda okubaako omulabirizi w’ekitundu. a Okusobola okutuuka ku kyalo olukuŋŋaana olwo we lwali lugenda okubeera, kyali kibeetaagisa okutambulira mu mmotoka okumala essaawa emu, n’oluvannyuma okutambuza ebigere okumala essaawa bbiri. Abayizi abo bakkiriza okugenda ku lukuŋŋaana olwo, era 17 ku bo be baaliwo.
Oluvannyuma lwa wiiki ntono, omulabirizi w’ekitundu awamu n’ababuulizi abalala, baamala ennaku nnya nga bali wamu n’abayizi ba Bayibuli abo. Buli ku makya, baalabanga vidiyo ezeesigamiziddwa ku Bayibuli eziri mu Lukeci, eziri ku jw.org, era baasomanga akatabo Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala? Buli lwaggulo, baalabanga programu eziri ku JW Broadcasting. Omulabirizi w’ekitundu era yakola enteekateeka buli muyizi ayigirizibwe ku lulwe.
Mu nnaku ezo ennya, ababuulizi abo era baabuulira ne mu byalo ebirimu abantu aboogera Olukeci ebyali byetooloddewo, era ne bayita abantu ku lukuŋŋaana olw’enjawulo. Abantu 47 abajja ku lukuŋŋaana olwo baakubirizibwa okutandika okuyiga Bayibuli, era amaka 11 gakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli.
Oluvannyuma lw’emyezi mitono, abakadde baakola enteekateeka wabengawo olukuŋŋaana buli wiikendi ku kyalo kye baasooka okugendamu. Leero, abantu nga 40 be babaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Ate era omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu bwe gwateekebwateekebwa mu kitundu ekyo, abantu 91 be baaliwo.
Marta bw’ajjukira ebyo byonna ebyaliwo, agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa. Oluusi mpulira nga sirina kya maanyi kye nnyinza kukola. Naye Katonda asobola okutukozesa okuyamba abalala. Yali amanyi ebiri mu mitima gy’abantu b’omu byalo ebyo, era yabasika n’abaleeta eri abantu be. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa abaagala nnyo.”
a Omulabirizi w’ekitundu ye Mujulirwa wa Yakuwa akyalira ebibiina nga 20 ebiri mu kitundu ky’atwala.