Okujjukira Okufa kwa Yesu
Omulundi gumu buli mwaka, tuba n’omukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu mu bifo bingi okwetooloola ensi. Tukola bwe tutyo kubanga Yesu yalagira abagoberezi be nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” (Lukka 22:19) Omukolo ogunaddako gujja kubaawo ku Lwomukaaga, Maaki 27, 2021.
Tukwaniriza okutwegattako ku mukolo guno omukulu ennyo. Olw’ekirwadde kya COVID-19 omukolo guno tujja kukwata nga tuyitira mu nkola ya videoconference. Okumanya engeri gy’oyinza okweyunga ku mukolo ogwo, buuza omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.