‘Langirira Amawulire Amalungi!’
Olukuŋŋaana Olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa 2024
Okuyingira kwa bwereere • Teri kusolooza ssente
Ebinaabeera mu Lukuŋŋaana
Olwokutaano: Ojja kulaba obukakafu obulaga nti ebyo byonna ebyogerwa ku Yesu mu bitabo by’Enjiri ddala bituufu. Ate era ojja kulaba engeri ebyo ebiri mu bitabo ebyo gye bisobola okutuganyula leero.
Olwomukaaga: Kiki Bayibuli kye yayogera ku kuzaalibwa kwa Yesu ne ku ebyo ebyandibaddewo ng’akyali muto? Ddala obunnabbi obwo bwatuukirira?
Ssande: Mu kwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli okulina omutwe, “Ensonga Lwaki Tetutya Mawulire Mabi,” ojja kulaba ensonga lwaki abantu bangi bawulira nti balina obukuumi era balina essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso, wadde ng’embeera y’ensi yeeyongera kwonooneka.
OMUZANNYO
Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu: Ekitundu 1
Ekitangaala ky’Ensi
Yesu yazaalibwa mu ngeri ey’ekyamagero era oluvannyuma waliwo ebintu ebirala bingi ebyaliwo ng’akyali muto. Bazadde be baamutwala e Misiri nga kabaka eyali omutemu ayagala kumutta. Oluvannyuma yawuniikiriza abamu ku bayigiriza abakugu abaaliwo mu kiseera kye. Ebintu ebyo awamu n’ebirala bijja kulagibwa mu muzannyo ogwawuziddwamu ebitundu ebibiri, ogujja okubaawo ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga.
Laba vidiyo zino wammanga ezikwata ku lukuŋŋaana olunene olw’omwaka guno
Biki Ebibeera ku Nkuŋŋaana Zaffe Ennene?
Laba by’osaanidde okusuubira ng’ogenze ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa.
Olukuŋŋaana Olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa Olwa 2024: “Langirira Amawulire Amalungi!”
Laba bye tugenda okuyiga ku lukuŋŋaana olunene olw’omwaka guno.
Ebimu ku Ebyo Ebinaabeera mu Muzannyo: Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu
Abantu bangi bamanyi ebikwata ku kuzaalibwa kwa Yesu okwaliwo mu ngeri ey’ekyamagero. Naye biki ebyaliwo nga tannazaalibwa n’oluvannyuma lw’okuzaalibwa?