Enjigiriza za Bayibuli
Bayibuli eddamu ebibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu abantu bye batera okwebuuza. Okuva edda n’edda, Bayibuli ebadde ya muganyulo. Ekitundu kino kirimu amagezi agava mu Bayibuli agasobola okutuyamba mu bulamu obwa bulijjo.—2 Timoseewo 3:16, 17.
Ebiriko
EBIBUUZO BAYIBULI BY’EDDAMU
“Omusamaliya Omulungi”
Yesu yakozesa olugero olwo okuyigiriza abantu engeri y’okuyisaamu abalala, ka babe nga baakulira mu mbeera ki oba nga ba ggwanga ki.
EBIBUUZO BAYIBULI BY’EDDAMU
“Omusamaliya Omulungi”
Yesu yakozesa olugero olwo okuyigiriza abantu engeri y’okuyisaamu abalala, ka babe nga baakulira mu mbeera ki oba nga ba ggwanga ki.
Yiga Bayibuli
Tukwaniriza Okuyiga Naffe Bayibuli
Tandika okuyiga Bayibuli ku bwereere nga waliwo akuyambako.
Saba Omuntu Akukyalire
Mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekikwata ku Bayibuli oba yiga ebisingawo ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa.
Eby’Okukozesa mu Kuyiga Bayibuli
Londa ku by’okukozesa bino ebinaakuyamba okuyiga Bayibuli mu ngeri eneekuganyula.
Bayibuli Esobola Kukuyamba Etya?
Emirembe n’Essanyu
Bayibuli eyambye abantu bangi nnyo okwaŋŋanga ebizibu bye boolekagana nabyo buli lunaku, okuweweeza ku bulumi bwe balina, n’okufuna ekigendererwa mu bulamu.
Obufumbo n’Amaka
Abafumbo n’amaka boolekagana n’ebizibu bingi. Amagezi amalungi agali mu Bayibuli gasobola okuyamba ab’omu maka okukolagana obulungi.
Ebiyamba abavubuka
Manya ebisobola okuyamba abavubuka okwolekagana n’ebizibu bye batera okufuna.
Abaana
Kozesa eby’okukola ebinyuma, ebyesigamiziddwa ku Bayibuli, okuyigiriza abaana bo empisa ennungi.
Kiki Bayibuli ky'Egamba?
Ebibuuzo Bayibuli by’Eddamu
Funa eby’okuddamu mu bibuuzo bye weebuuza ebikwata ku Katonda, Yesu, amaka, okubonaabona n’ebirala.
Ebyafaayo ne Bayibuli
Weetegereze engeri abantu gye baasobola okufunamu Bayibuli. Weetegereze obukakafu obulaga nti yeesigika era nti ebigirimu bikwatagana n’ebyafaayo.
Ssaayansi ne Bayibuli
Ssaayansi ne Bayibuli bikwatagana? Bw’ogeraageranya Bayibuli ky’eyogera n’ebyo bannassaayansi bye bazudde obaako by’oyiga.