ABAVUBUKA BABUUZA
Bayibuli Eyinza Etya Okunnyamba?—Ekitundu 2: Nnyumirwa Okusoma Bayibuli
Omuvubuka ayitibwa Will yagamba nti: “Oyinza obutanyumirwa kusoma Bayibuli bw’oba nga tomanyi ngeri ntuufu ya kugisomamu.”
Oyagala okumanya engeri gy’oyinza okunyumirwa okusoma Bayibuli? Ekitundu kino kijja kukuyamba.
Kuba akafaananyi ku ebyo by’osoma
Beera ng’eyaliwo ng’ebyo by’osomako bikolebwa. Oyinza okukola bino:
Londa ekintu ekyaliwo ekyogerwako mu Bayibuli ky’oyagala okusomako. Oyinza okulonda ekintu ekimu ekyaliwo ekyogerwako mu Bayibuli, gamba nga mu bitabo by’Enjiri. Oba oyinza okulonda ku ebyo ebiri mu kitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “Ebiri mu Bayibuli nga Bisomebwa ng’Omuzannyo.”
Soma ku ekyo ky’olonze. Osobola okukyesomera wekka, oba osobola okusoma mu ddoboozi eriwulikika ng’oli wamu ne mikwano gyo oba ab’ewaka. Omuntu omu ayinza okusoma ebigambo by’omuwandiisi, ate abalala ne basoma ebigambo by’abo ababa boogerwako.
Gezaako agamu ku magezi agaweereddwa wammanga:
Kuba ebifaananyi ebiraga ekyo ky’osomako, oba ebiraga engeri ebyo by’osomako gye byajja biddiriŋŋana. Buli kifaananyi kiwandiikeko ebigambo ebikinnyonnyola.
Kuba ebipande. Ng’ekyokulabirako, bw’osoma ku muntu omu eyali omwesigwa, wandiika engeri omuntu oyo ze yalina, ebyo bye yakola, awamu n’emikisa gye yafuna.
Ebyo by’osomako bifuule ng’ebyakabaawo. Baako b’obuuza ebibuuzo bawe endowooza zaabwe nga balinga abaaliwo.
Bwe kiba nti omu ku abo aboogerwako yasalawo mu ngeri etali ya magezi, kuba akafaananyi ku bwe kyandibadde singa yasalawo mu ngeri ey’amagezi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Peetero okwegaana Yesu. (Makko 14:66-72) Kiki eky’amagezi Peetero kye yandikoze mu mbeera eyo?
Oyinza n’okuwandiika omuzannyo ogwesigamiziddwa ku ebyo by’osomyeko mu Bayibuli. Teekamu ebyo by’oyize ku ebyo by’osomyeko.—Abaruumi 15:4.
Noonyereza
Bw’onoonyereza, oyinza okuzuula amazima amalala ag’omuwendo. Mu butuufu, oluusi ekigambo kimu oba bibiri kiyinza okukuyamba okumanya ekintu ekikulu ennyo ku ebyo by’oba osomako.
Ng’ekyokulabirako, geraageranya Matayo 28:7 ne Makko 16:7.
Lwaki Makko yagamba nti Yesu yali agenda kulabikira abayigirizwa be “ne Peetero”?
Eky’okulowoozaako: Makko teyaliiwo ng’ebintu ebyo bibaawo; kirabika bye yawandiika yabiggya ku Peetero.
Eky’okuyiga: Lwaki Peetero ateekwa okuba nga yaddamu nnyo amaanyi bwe yawulira nti Yesu yali ayagala okumulaba? (Makko 14:66-72) Yesu yakiraga atya nti yali mukwano gwa Peetero owa nnamaddala? Oyinza otya okukoppa Yesu n’obeera ow’omukwano owa nnamaddala?
Bw’okuba akafaananyi ku ebyo by’osomako era n’obinoonyerezaako, ojja kunyumirwa okusoma Bayibuli.