Buuka ogende ku bubaka obulimu

ABAVUBUKA BABUUZA

Ddala Okukomberera Ebitundu by’Omulala eby’Ekyama Kuba Kwegatta Naye?

Ddala Okukomberera Ebitundu by’Omulala eby’Ekyama Kuba Kwegatta Naye?

 Okusinziira ku lipoota eyafulumizibwa ekitongole kya Amerika ekiyitibwa Centers for Disease Control and Prevention, kyenkana kimu kya kubiri eky’abavubuka abaabuuzibwa ebibuuzo abaali wakati w’emyaka 15 ne 19 baali beenyigiddeko mu kikolwa ekyo. Sharlene Azam, eyawandiika ekitabo Oral Sex Is the New Goodnight Kiss yagamba nti: “Bw’oyogerako n’abavubuka ku ndowooza gye balina ku kukomberera ebitundu by’abalala eby’ekyama bagamba nti si kibi. Mu butuufu, bakitwata ng’ekintu ekya bulijjo.”

 Gwe olowooza otya?

 Ddamu ebibuuzo bino wammanga nti yee oba nedda.

  1.   Omuwala asobola okufuna olubuto nga bamukomberedde ebitundu bye eby’ekyama?

    1.   Yee

    2.   Nedda

  2.   Kya bulabe eri obulamu bw’omuntu?

    1.   Yee

    2.   Nedda

  3.   Ddala kuba kwegatta?

    1.   Yee

    2.   Nedda

 Ekituufu kye kiruwa?

 Geraageranya eby’okuddamu byo n’ebiweereddwa wammanga.

  1.   Omuwala asobola okufuna olubuto nga bamukomberedde ebitundu eby’ekyama?

     Eky’okuddamu: Nedda. Olw’okuba omuntu tasobola kufuna lubuto, abamu balowooza nti omuze ogwo teguliimu kabi konna.

  2.   Kya bulabe eri obulamu bw’omuntu?

     Eky’okuddamu: Yee. Omuntu eyeenyigira mu muze ogwo asobola okufuna obulwadde bwa hepatitis (A oba B), amayute mu bitundu by’ekyama, kabootongo, enziku, siriimu, n’endwadde ndala ez’obukaba.

  3.   Ddala kuba kwegatta?

     Eky’okuddamu: Yee. Ekikolwa kyonna ekizingiramu okukozesa ebitundu by’omulala eby’ekyama, gamba ng’okukomberera ebitundu by’omulala eby’ekyama, okulya ebisiyaga, oba okukwatirira ebitundu by’omulala eby’ekyama, kuba kwegatta.

 Lwaki kikulu okumanya endowooza ya Katonda?

 Ka tulabe ebyawandiikibwa kye byogera ku nsonga eyo.

 Bayibuli ky’egamba: “Katonda ky’ayagala kye kino . . . mwewale ebikolwa eby’obugwenyufu.”​—1 Abassessalonika 4:3.

 Ekigambo ekyavvuunulwa “ebikolwa eby’obugwenyufu” mu Bayibuli, kizingiramu okwegatta kwonna okutakkirizibwa mu mateeka, gamba ng’okwegatta n’omuntu atali mwami wo oba mukyala wo, okukomberera ebitundu by’omulala eby’ekyama, okulya ebisiyaga, n’okukwatirira ebitundu by’omulala eby’ekyama. Omuntu eyeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu asobola okufuna ebizibu eby’amaanyi, nga n’ekisinga byonna, ayonoona enkolagana ye ne Katonda.​—1 Peetero 3:12.

 Bayibuli ky’egamba: “Oyo eyenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu aba akola ekibi ku mubiri gwe.”​—1 Abakkolinso 6:18.

 Okukomberera ebintu by’omulala eby’ekyama kiyinza okuviirako omuntu okufuna obulwadde era n’okwonoona enkolagana ye ne Katonda. Ate era kiyinza okuleetera omuntu okuwulira obubi. Ekitabo ekiyitibwa Talking Sex With Your Kids kigamba nti: “Abantu abeenyigira mu bikolwa eby’okwegatta nga tebannayingira bufumbo emirundi mingi bejjusa, era batera okuwulira nti bannaabwe mu bufumbo tebabafaako. Era bwe kityo bwe kiba ng’omuntu akozesezza ebitundu bye eby’ekyama mu ngeri endala yonna enkyamu.”

 Bayibuli ky’egamba: “Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa.”​—Isaaya 48:17.

 Olowooza amateeka ga Katonda agakwata ku kwegatta gakuganyula? Oba olowooza gakukugira? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, lowooza ku luguudo oluyitako ebidduka ebingi, nga kuliko ebipande ebiwandiikiddwako sipiidi omuntu kw’alina okuvugira, ebimulagira okuyimirira, era n’obubonero obulala. Obubonero obwo obutwala ng’obukukugira oba ng’obukuyamba? Kiki ekiyinza okubaawo singa ggwe n’abavuzi b’ebidduka abalala temubugoberera?

Amateeka g’oku nguudo tegakukkiriza kukola buli kimu kye wandyagadde, naye ga bukuumi gy’oli. Mu ngeri y’emu, amateeka ga Katonda gakukugira okukola ebintu ebimu, naye ga bukuumi gy’oli

 Bwe kityo bwe kiri ne ku mateeka ga Katonda. Bw’osalawo obutagagoberera, oba ojja kukungula ky’osiga. (Abaggalatiya 6:7) Ekitabo ekiyitibwa Sex Smart kigamba nti: “Gy’okoma obutagoberera mitindo gya mpisa gy’okkiririzaamu n’okola ebyo by’omanyi nti si birungi, gy’okoma okuwulira ng’oweddemu ekitiibwa.” Naye bw’ogoberera emitindo gya Katonda egy’empisa, okuuma ekitiibwa kyo era oba n’omuntu ow’omunda omulungi.​—1 Peetero 3:16.