Waliwo Omuntu Yenna Ayinza Okumanya Abaawandiika Bayibuli?
Bayibuli ky’egamba
Abantu bangi babagamba nti tetusobola kumanya baani abaawandiika Bayibuli. Naye Bayibuli etuyamba okumanya abaawandiika ebigirimu. Ebitabo ebimu bitandika n’ebigambo nga bino: “Ebigambo bya Nekkemiya,” ‘Okwolesebwa Isaaya kwe yafuna,’ ne “Yakuwa yayogera ne Yoweeri.”—Nekkemiya 1:1; Isaaya 1:1; Yoweeri 1:1.
Abawandiisi ba Bayibuli bangi baagamba nti bye baawandiika baabiwandiika mu linnya lya Yakuwa, Katonda omu ow’amazima, era nti ye yabawa obulagirizi. Emirundi egisukka mu 300, bannabbi abaawandiika Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya baagamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba.” (Amosi 1:3; Mikka 2:3; Nakkumu 1:12) Abawandiisi abamu baafuna obubaka okuva eri Katonda okuyitira mu bamalayika.—Zekkaliya 1:7, 9.
Bayibuli yawandiikibwa abasajja nga 40 mu bbanga lya myaka egisukka mu 1,600. Abasajja abamu baawandiika ebitabo ebisukka mu kimu. Bayibuli erimu ebitabo 66. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, abamu bye bayita Endagaano Enkadde, mulimu ebitabo 39, ate mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, abamu bye bayita Endagaano Empya, mulimu ebitabo 27.