Baani Abagenda Emagombe?
Bayibuli ky’egamba
Ebigambo “Sheol” ne “Hades” ebiri mu nnimi ezaakozesebwa nga Bayibuli ewandiikibwa, bitegeeza magombe, so si kifo abantu bye babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira. Baani abagenda emagombe? Abantu abalungi n’ababi bonna bagenda emagombe. (Yobu 14:13; Zabbuli 9:17) Bayibuli egamba nti amagombe ye “nnyumba abantu bonna abalamu gye balisisinkana.”—Yobu 30:23.
e Yesu bwe yafa, yagenda emagombe. Kyokka ye “teyalekebwa magombe,” kubanga Katonda yamuzuukiza.—Ebikolwa 2:31, 32.
Amagombe ganaabeerawo emirembe gyonna?
Abo bonna abali emagombe Yesu ajja kubazuukiza baddemu babe balamu ng’akozesa amaanyi Katonda ge yamuwa. (Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15) Nga bwogera ku kuzuukira okujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso, obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 20:13 bugamba nti, “okufa n’amagombe ne bireeta abafu ababirimu.” Abafu abali emagombe bwe balimala okuzuukizibwa, amagombe gajja kuba tegakyaliwo. Ate era, tewali n’omu ajja kuddamu kugenda magombe kubanga “okufa tekulibaawo nate.”—Okubikkulirwa 21:3, 4; 20:14.
Kyokka, si buli muntu afa nti agenda magombe. Bayibuli eraga nti abantu abamu bafuuka babi nnyo ne kiba nti tebasobola kukyusa nneeyisa yaabwe. (Abebbulaniya 10:26, 27) Abantu ng’abo bwe bafa, tebagenda magombe, wabula bagenda mu Ggeyeena. Ggeyeena kirina amakulu ga kabonero, era kitegeeza okufa awatali ssuubi lya kuzuukira. (Matayo 5:29, 30) Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti abakulembeze b’amadiini bannanfuusi abaaliwo mu kiseera kye baali ba kugenda mu Ggeyeena.—Matayo 23:27-33.