Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Bayibuli Erina ky’Eyogera ku Kugattibwa kw’Abantu Abafaanaganya Ekikula?

Ddala Bayibuli Erina ky’Eyogera ku Kugattibwa kw’Abantu Abafaanaganya Ekikula?

Bayibuli ky’egamba

 Omutonzi waffe yateekawo dda amateeka agalina okufuga obufumbo nga gavumenti z’abantu tezinnalowooza ku kya kuteekawo mateeka gakwata ku bufumbo. Ekitabo eky’Olubereberye kigamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.” (Olubereberye 2:24) Yesu yakikkaatiriza nti obufumbo bulina kuba wakati ‘w’omusajja n’omukazi.’—Matayo 19:4.

 Kyeyoleka lwatu nti Katonda ayagala obufumbo bube bwa lubeerera era nga buli wakati w’omusajja n’omukazi. Omusajja n’omukazi yabakola nga buli omu asobola okuyamba munne n’okukola ku nneewulira ze. Era yabatonda nga basobola okuzaala abaana.