Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Dayimooni Gyeziri?

Ddala Dayimooni Gyeziri?

Bayibuli ky’egamba

 Yee. Dayimooni be “bamalayika abaayonoona,” ebitonde eby’omwoyo ebyajeemera Katonda. (2 Peetero 2:4) Malayika eyasooka okufuuka dayimooni ye Sitaani Omulyolyomi, Bayibuli gy’eyita “omufuzi wa badayimooni.”—Matayo 12:24, 26.

Obujeemu mu biseera bya Nuuwa

 Bayibuli eyogera ku bamalayika abaajeemera Katonda ng’Amataba g’omu biseera bya Nuuwa tegannabaawo. Egamba nti: “Abaana ba Katonda ow’amazima ne balaba ng’abawala b’abantu balabika bulungi, era ne batandika okuwasa bonna be baalondangamu.” (Olubereberye 6:2) Bamalayika abo ababi ‘baaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu’ mu ggulu ne beeyambaza emibiri gy’abantu basobole okwegatta nabo.—Yuda 6.

 Amataba bwe gajja, bamalayika abo abajeemu beeyambulako emibiri gye baali beeyambazza ne baddayo mu ggulu. Naye Katonda yabagoba mu maka ge ag’omu ggulu. Ekimu ku bibonerezo Katonda bye yabawa kwe kubagaana okuddamu okweyambaza emibiri gy’abantu.—Abeefeso 6:11, 12.