Bayibuli Eyogera Ki ku Ddembe ly’Okwesalirawo? Ddala Katonda y’Ategeka Buli Ekikutuukako?
Bayibuli ky’egamba
Katonda yatuwa eddembe ly’okwesalirawo; teyatutonda nga yatuteekerateekera dda bye tulina okukola. Weetegereze Bayibuli ky’egamba.
Katonda yatonda abantu mu kifaananyi kye. (Olubereberye 1:26) Okwawukana ku nsolo ezikolera ku magezi agaazitonderwamu, ffe abantu tufaanana Omutonzi kuba tusobola okwoleka engeri gamba ng’okwagala n’obwenkanya. Era okufaananako Omutonzi waffe tulina eddembe ly’okwesalirawo.
Bye tusalawo birina akakwate n’ebiseera byaffe eby’omu maaso. Bayibuli etukubiriza ‘okweroboza obulamu nga tuwuliriza eddoboozi lya Katonda,’ kwe kugamba, nga tugondera ebiragiro bye. (Ekyamateeka 30:19, 20) Ebigambo ebyo tebyandibadde na makulu singa tetwalina ddembe lya kwesalirawo. Mu kifo ky’okutukaka okukola by’ayagala, Katonda atugamba nti: “Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange! Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga.”—Isaaya 48:18.
Okulemererwa oba okutuuka ku buwanguzi okusingira ddala kyesigamye ku ffe. Bwe tuba twagala okutuuka ku buwanguzi tulina okukola ennyo. Bayibuli egamba nti: “Buli kintu omukono gwo kye gufuna okukola, okikolanga n’amaanyi go gonna.”(Omubuulizi 9:10) Era egamba nti: “Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi.”—Engero 21:5.
Eddembe ly’okwesalirawo kirabo okuva eri Katonda, kubanga kitusobozesa okumwagala ‘n’omutima gwaffe gwonna.’—Matayo 22:37.
Katonda y’Ategeka Buli Kimu?
Bayibuli egamba nti Katonda ye Muyinza w’Ebintu Byonna, era amaanyi ge tegaliiko kkomo. (Yobu 37:23; Isaaya 40:26) Kyokka, takozesa maanyi ge kusalawo buli kimu ekibaawo. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti Katonda ‘yeefuga’ eri Babulooni eky’edda, omulabe w’abantu be. (Isaaya 42:14) Mu ngeri y’emu, ne mu kiseera kino agumiikiriza abo abakozesa obubi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo ne batuusa akabi ku balala. Naye Katonda tajja kubagumiikiriza bbanga lyonna.—Zabbuli 37:10, 11.