Bayibuli Eyogera ki ku Musajja n’Omukazi Okubeera Bombi nga si Bafumbo?
Bayibuli ky’egamba
Bayibuli egamba nti Katonda ayagala abantu ‘beewale ebikolwa eby’obugwenyufu.’ (1 Abassessalonika 4:3) Ekigambo “ebikolwa eby’obugwenyufu” ekikozesebwa mu Bayibuli kizingiramu obwenzi, okulya ebisiyaga, era n’okwegatta okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi abatali bafumbo.
Lwaki kikulu eri Katonda abantu okuyingira obufumbo oba obutabuyingira?
Katonda ye yatandikawo enteekateeka y’obufumbo. Yabutandikawo bwe yagatta abantu abasooka. (Olubereberye 2:22-24) Tekyali kigendererwa kya Katonda omusajja n’omukazi okubeera awamu nga tebalina kigendererwa kya kuyingira bufumbo.
Katonda amanyi ekisinga obulungi eri abantu. Yatandika obufumbo nga bwa kuba bwa lubeerera ekyandiganyudde ab’omu maka bonna. Lowooza ku kyokulabirako kino. Okufaananako akatabo akalimu obulagirizi obukwata ku ngeri y’okupangamu obulungi ekintu, Katonda atuwa obulagirizi obutuyamba okuba n’amaka amanywevu. Emitindo gya Katonda bulijjo kiganyula abo abagigoberera.—Isaaya 48:17, 18.
Abantu okwegatta nga si bafumbo kisobola okuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okubaviirako okufuna embuto ze bateeyagalidde, okufuna endwadde z’obukaba, era n’okulumizibwa omutima. a
Katonda yawa abasajja n’abakazi obusobozi bw’okuzaala okuyitira mu kwegatta. Katonda obulamu abutwala nga butukuvu era obusobozi bw’okuzaala kirabo kya muwendo. Katonda ayagala ekirabo ekyo tukitwale nga kya muwendo nga tussaamu enteekateeka ya Katonda ey’obufumbo ekitiibwa.—Abebbulaniya 13:4.
Kiri kitya omusajja n’omukazi okubeera bonna nga tebannafumbiriganwa, nga beegezaamu okulaba obanga banaaba basanyufu nga bali bombi?
Obufumbo okusobola okubeera obunywevu tekisinziira ku kusooka kubeera mmwenna okumala ekiseera nga buli omu talina kigendererwa kya kunywerera ku munne. Mu kifo ky’ekyo, obufumbo bunywera buli omu mu bufumbo bw’afuba okunywerera ku munne era ne bakolera wamu okugonjoola ebizibu bye baba bafunye. b Obufumbo buyamba buli omu okunywerera ku munne.—Matayo 19:6.
Abafumbo bayinza batya okuba n’obufumbo obunywevu?
Tewali bufumbo bulimu bantu batuukiridde. Wadde kiri kityo, abafumbo basobola okuba n’obufumbo obunywevu bwe bakolera ku magezi agali mu Bayibuli. Lowooza ku byokulabirako bino:
Kulembeza ebyetaago bya munno.—1 Abakkolinso 7:3-5; Abafiripi 2:3, 4.
Mwagalane nnyo era muwaŋŋane ekitiibwa.—Abeefeso 5:25, 33.
Yiga okufuga olulimi lwo.—Engero 12:18.
Beera mugumiikiriza era omwangu okusonyiwa.—Abakkolosaayi 3:13, 14.
a Laba ekitundu, “Abavubuka Babuuza . . . Watya Singa Waliwo Ampikiriza Okwegatta Naye?”
b Laba ekitundu, “Amaka Okuba Amanywevu—Obumalirivu.”