Muwe Yakuwa Ekitiibwa
Wanula:
1. Tery’a ’linga ggwe Yakuwa,
Ggw’a ’li waggulu ennyo.
’Kwagala kungi kw’ondaga
Ki nze kye nnyinz’o kukuwa?
Bwe ntunuulira eggulu,
’Kitiibwa n’amaanyi go,
Mbiraba era nneebuuza,
Nz’a ni ggw’o kunjagal’e nnyo?
(CHORUS)
Nkuyimbira Yakuwa Katonda.
Ggw’o muyinza wa byonna.
Ggwe Kabaka w’emirembe gyonna,
Kyenva nkutendereza;
K’oweebweng’e kitiibwa.
2. Wamp’o bulamu Yakuwa,
Ka nkutenderezenga.
Ka ntegeezenga ‘balala
Obulungi bwo n’ettendo.
Nkizo ya maanyi Yakuwa,
Okukuweerezanga.
Ggwe Lwazi lwange Yakuwa.
Nja kukunywererangako.
(CHORUS)
Nkuyimbira Yakuwa Katonda
Ggw’o muyinza wa byonna.
Ggwe Kabaka w’emirembe gyonna,
Kyenva nkutendereza;
K’oweebweng’e kitiibwa.
3. Bwe ntunuulir’e bitonde,
Mu bwengula ne ku nsi
Nkiraba bulungi ddala
Nti byolek’o kwagala kwo;
Byoleka amagezi go
Era n’ekitiibwa kyo.
Nja kukutenderezanga
Olw’ebirungi ebyo byonna.
(CHORUS)
Nkuyimbira Yakuwa Katonda
Ggw’o muyinza wa byonna.
Ggwe Kabaka w’emirembe gyonna;
Kyenva nkutendereza.
K’oweebweng’e kitiibwa.
(Laba ne Zb. 96:1-10; 148:3, 7.)