Beera Muvumu era wa Maanyi
Wanula:
1. Akeera nnyo
’Kuzuukuka
N’asaba Yakuwa:
“Katonda wange,
Tuyambe ffenna
Tube beesigwa gy’oli.”
Bw’aba mu mbeer’e nzibu,
Asigala mukkakkamu.
Abeera ’jjukir’e bigambo
By’oluyimba luno:
(CHORUS)
‘Nja kukunyweza.
Toba na kutya.
Nja kuba naawe.
Nja kukuyamba.’
Ebigambo bino
Bimukwatako nnyo:
“Ajja kukunyweza,
Obeere wa maanyi.”
(BRIDGE)
Alin’o kugenda
Anoonye ssente
Tamanyi bwe binaaba.
Ab’emikwano
Aba nnamaddala
Bamuzaamu Amaanyi.
2. Asobol’o
Kutumbiira
Ng’empungu mu bire.
Eby’okukola
Aba na bi-ngi nnyo—
Era ’saba nnyo Yakuwa.
Akola ky’asobola
Ne bw’abeera n’obulumi.
Abeera ’jjukir’e
Bigambo by’oluyimba luno:
(CHORUS)
‘Nja kukunyweza.
Toba na kutya.
Nja kuba naawe.
Nja kukuyamba.’
Ebigambo bino
Bimukwatako nnyo:
“Ajja kukunyweza,
Obeere wa maanyi.”
“Ajja kukunyweza,
Obeere wa maa-nyi.”