Buli Lunaku Luba n’Ebyeraliikiriza Ebyalwo
Wanula:
1. Nkimanyi nty’e bizibu bijja kuggwaawo,
Mu lusuku lwa Katonda teribaayo nnaku.
Naye bwe nfun’e bizibu,
Oluusi nneerabira nti,
Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira,
Era nti anfaako nnyo.
(CHORUS)
Nfub’o kusaba Yakuwa.
Bwe mba nneeraliikiridde
Annyamba okuguma.
Nkimanyi nti siri nzekka,
Era n’ab’oluganda
Banfaako nnyo ddala.
Siyinza kumanya binaabaawo
Ku lunaku olw’enkya.
Olunaku lw’enkya lubeera
N’emitawaana
Egirumala.
2. Koleranga ku magezi
Gano ge nkuwa:
Bw’ofunang’e bizibu
Tobyemalirangako.
Jjukira nti Katonda
Yawaayo ’Mwana we omu.
Olw’okuba ’twagala nnyo.
Tusaanidd’o kumwesiga—
Toterebukanga.
(CHORUS)
Tusabe Yakuwa.
Ebitweraalikiriza
Tujja kubigumira.
Tasobola ’ttwabuulira.
Era n’ab’oluganda
Batufaako nnyo ddala.
Tetuyinza kumanya binaabaawo
Ku lunaku olw’enkya.
Olunaku lw’enkya lubeera
N’emitawaana
Egirumala.
(CHORUS)
Tusabe Yakuwa.
Ebitweraalikiriza
Tujja kubigumira.
Tasobola ’ttwabuulira
Era n’ab’oluganda
Batufaako nnyo ddala.
Tetuyinza kumanya binaabaawo
Ku lunaku olw’enkya
Olunaku lw’enkya lubeera
N’emitawaana
Egirumala.
Egirumala.