Ggwe Kimanye
Wanula:
1. Bulijjo ’saba.
Er’o ’buulira.
Ate okuumye obwesigwa.
Wadde nga tetulaba by’oyitamu,
Manya nti Yakuwa ’biraba.
(PRE-CHORUS)
Kale bwe baba nga bakuwozesa,
Tobeera wekka.
Naffe tweyongedd’o kuguma
’Lw’o bwesigwa bwo.
(CHORUS)
Nze nkimanyi nti
‘Teri kijja ’ttwawukanya ku kwagala kwa Katonda.’
Nze nkimanyi nti
Teri kintu kiyinza kutuggyako kwagala kwe.
Ggwe kimanye nti
Katonda ’kwagala.
2. Mu mbeera zonna
Ggwe z’oyiseemu
Weesize Yakuwa
Okkuyamba.
Wadd’a balabe bakuyigganya nnyo,
Bangi abali ku ludda lwo.
(PRE-CHORUS)
Kale bwe baba nga bakuwozesa,
Tobeera wekka.
Naffe tweyongedd’o kuguma,
Lw’o bwesigwa bwo.
(CHORUS)
Nze nkimanyi nti
‘Teri kijja ’ttwawukanya ku kwagala kwa Katonda.’
Nze nkimanyi nti
Teri kintu kiyinza kutuggyako kwagala kwe.’
Ggwe kimanye nti
Katonda ’kwagala.
Kimanye.
(BRIDGE)
Jjukira nti obonaabona lwa Katonda
Oh, Lwa Katonda.
Naye ba mugumu kubanga ojja kuwangula—
Oh, kuwangula.
(CHORUS)
Ooh nkimanyi nti
‘Teri kijja ’ttwawukanya ku kwagala kwa Katonda.’
Nze nkimanyi nti
Teri kintu kiyinza kutuggyako kwagala kwe.
Nze nkimanyi nti
Teri kijja ’ttwawukanya ku kwagala kwa Katonda.
Nze nkimanyi nti
Teri kintu kiyinza kutuggyako kwagala kwe.
Ggwe kimanye nti
Katonda ’kwagala.