Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mpa Obuvumu

Mpa Obuvumu

(2 Bassekabaka 6:16)

Wanula:

  1. 1. Nneeraliikiridde—

    Ebijja mu maaso.

    Kyokka ndi mukakafu nti

    Wooli okunnyamba.

    Ebizibu bingi,

    Naye nkimanyi nti

    Ggwe Katonda omwesigwa;

    Okuuma ’bantu bo.

    (CHORUS)

    Yakuwa, nnyamb’o kulaba

    Nti abali naffe

    Bangi nnyo ddala okusinga

    Abalabe baffe.

    Nnyamba mbe muvumu;

    Nkunywererengako.

    Nkimanyi bulungi nti

    Ojja kuwangula.

  2. 2. Teri muntu yenna

    Atafuna kutya.

    Yakuwa, ggwe lwazi lwange;

    Oli kiddukiro.

    Nyamba mbe muvumu

    Nzigwemu okutya.

    Nkwesize; tewali kye ntya—

    Ne bwe kuba kufa.

    (CHORUS)

    Yakuwa, nnyamb’o kulaba

    Nti abali naffe

    Bangi nnyo ddala okusinga

    Abalabe baffe.

    Nnyamba mbe muvumu;

    Nkunywererengako.

    Nkimanyi bulungi nti

    Ojja kuwangula.

    (CHORUS)

    Yakuwa, nnyamb’o kulaba

    Nti abali naffe

    Bangi nnyo ddala okusinga

    Abalabe baffe.

    Nnyamba mbe muvumu;

    Nkunywererengako.

    Nkumanyi bulungi nti

    Ojja kuwangula.

    Nkimanyi bulungi nti

    Ojja kuwangula.