Tuli Bumu
Wanula:
1. ’Muyaga ogw’amaanyi
Tuzze tugufuna.
Omuyag’o gukunta
Kwe kuyigganyizibwa.
Naye tuli bagumu nnyo,
Ffe Yakuwa ’tuyamba.
‘Tewali kya kulwanyisa’
Kiyinza kututiisa.
(CHORUS)
Tuva mu nsi za njawulo,
Naye ’ra tuli bumu.
Tuli banywevu nnyo kuba
Ffe Yakuwa ’tunyweza.
Ffe Yakuwa ’tunyweza.
2. Yakuwa ’fuga byonna
Ye gwe tulindirira
Ajja kutulokola
Okwagala kwe kungi.
Talyabulira bantu be,
’Mwoyo gwe gutuyamba.
Wadd’a ’balabe bakambwe
Yakuwa ali naffe!
(CHORUS)
Tuva mu nsi za njawulo
Naye ‘ra tuli bumu.
Tuli banywevu nnyo kuba
Ffe Yakuwa ’tunyweza.
(BRIDGE)
Ffe tuli bagumu;
Tetutya batulumba.
Ffe tuli bamalirivu
’Kuweereza Katonda.
(CHORUS)
Tuva mu nsi za njawulo,
Naye ’ra tuli bumu.
Tuli banywevu nnyo kuba
Ffe Yakuwa ’tunyweza.
Ffe Yakuwa ’tunyweza.