Tunyweze Okukkiriza
Wanula:
1. Nnasanyuka bwe bambuulira
Eby’e bikwata ku Katonda waffe.
Nnatandika okumwagal’e nnyo.
Naye ens’e ’yagala nze mmuveeko.
(PRE-CHORUS)
Sirimuvaako.
Nfub’o ’mmusanyusa.
(CHORUS)
Nja kulwanirira okukkiriza
Nja kukuuma obwesigwa.
Ekigambo kye era n’okusaba
Binnyamba nze okunywera.
’Kukkiriza kwange nja kkunyweza.
2. Twerondera ’w’okuzimba:
Oba ku lwazi oba mmusenyu.
Ensi eyagal’o ttuwugula
Tusse obwesige mu bintu byayo.
(PRE-CHORUS)
Naye twesiga,
Bwakabaka bwokka.
(CHORUS)
Ka tulwanirire okukkiriza.
Tukuumenga obwesigwa.
Ekigambo kye era n’okusaba
Bituyamba okunywera.
’Kukkiriza kwaffe tukunyweze.
(CHORUS)
Ka tulwanirire okukkiriza.
Tukuumenga obwesigwa.
Ekigambo kye era n’okusaba
Bituyamba okunywera.
’Kukkiriza kwaffe tukunyweze.
Tukunyweze.
Tukunyweze.