Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amaka ga Yakuwa

Amaka ga Yakuwa

Wanula:

  1. 1. Mu nsi eno embi, nnali sisuubira—

    Nti, lulib’o lwo, ne nzuula kye nnoonya.

    Nnali njagala b’emikwan’a banfaako,

    Abatasosola, era ab’ekisa.

  2. 2. Kyokka mbazudde; ntuuse ’waka.

    Era nneebaza nnyo Yakuwa, olw’okunsembeza.

    Ampadd’a bantu abakulu n’abato.

    Banjagala nnyo; ntuuse mu bantu ba Yakuwa.

    (BRIDGE)

    Kati nnina baganda bange, ne bannyinaze.

    Tuli ba maka gamu, twagalana nnyo.

    Wadde tuva mu nsi nnyingi, Kitaffe ali omu.

    Tusembezeddwa mu maka ga Yakuwa.

  3. 3. Tuli ba luganda; tuli bumu.

    Tusiima nnyo Yakuwa ’lw’enkizo gy’atuwa,

    Tulina ab’oluganda mu nsi yonna.

    Tetusosola, Yakuwa atuyigiriza.

    (BRIDGE)

    Yee, tuva mu nsi nnyingi, naye twagalana.

    Tusembezeddwa mu maka ga Yakuwa.

  4. 4. Ensi eno mbi nnyo, ejjudde ‘nnaku,

    N’olwekyo, emikwano ffenna tugyetaaga.

    Era twesung’o bulamw’o bw’essanyu,

    Obutaggwaawo, nga tufuus’a baana be—

    Ku olwo, tuliba baana ba Yakuwa,

    Baana be,

    Baana be.