Yakuwa tatwabulira
Wanula:
1. Nneeraliikiriranga,
Nga nnoony’a w’okuddukira.
Ensi yandeeter’o kutya.
Naye kati sikyatya.
Kuba Yakuwa ankuuma,
Ate era nga mmwesiga.
Era anjagala.
(CHORUS)
Kuba yampa
’maanyi nga nnina ennaku,
Amaanyi nga nnennyamidde,
Amaanyi mu buzibu,
Yannyamba ne ŋŋuma,
Ne siterebuka,
Yannyamba okumwesiga.
Yakuwa tanjabulira.
Aba nange
Okundaga
Nze amakubo ge.
Aŋŋamba nti,
Okufuba kwange
Si kwa bwereere.
2. Talikuleka,
Ne bw’oba ewal’e nnyo,
Aba naawe.
Ne bw’olaba nti
Ebizibu bikwetoolodde
Ajja kukuyamba.
(CHORUS)
Ajja kukuwa
’Maanyi ng’olina ennaku
Amaanyi nga wennyamidde,
Amaanyi mu buzibu,
Ajja kukugumya,
Tojja ’tterebuka,
Ajja kukuyamb’o mwesige.
Yakuwa tatwabulira—
Aba naffe.
Yakuwa tatwabulira.
Aba wamu nnaffe
Ottulaga
Ffe amakubo ge.
Yakuwa tatwabulira.
Agamba nti,
Okufuba kwaffe
Si kwa bwereere.
(CHORUS)
Ye yampa
Maanyi nga nnina ennaku,
Amaanyi nga nnennyamidde,
Amaanyi mu buzibu,
Yannyamba ne ŋŋuma,
Ne siterebuka,
Yannyamba okumwesiga.
Yakuwa tatwabulira—
Aba naffe.
Yakuwa tatwabulira—
Aba naffe.
Yakuwa tatwabulira.