EKIBUUZO 14
Oyinza Otya Okukozesa Obulungi Ebintu by’Olina?
“Omuntu ayagala eby’amasanyu ajja kwavuwala; n’oyo ayagala ennyo omwenge n’amafuta tajja kugaggawala.”
“Oyo eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.”
“Ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa okulaba obanga alina ebimala okugumaliriza? Bw’atakikola, ayinza okuzimba omusingi naye n’alemererwa okumaliriza okuzimba omunaala, bonna abamulaba ne bamusekerera nga bagamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye teyasobola kumaliriza.’”
“Bwe bakkuta, n’agamba abayigirizwa be nti: ‘Mukuŋŋaanye obutundutundu obufisseewo, waleme kubaawo kyonoonebwa.’”