EKIBUUZO 17
Bayibuli Eyinza Etya Okuyamba Amaka Go?
ABAAMI/BATAATA
“N’abaami bwe batyo kibagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe. Omusajja ayagala mukyala we aba yeeyagala kennyini, kubanga tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira . . . Buli omu ku mmwe agwanidde okwagalanga mukyala we nga bwe yeeyagala kennyini.”
“Bataata temunyiizanga baana bammwe, naye mubakulize mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.”
ABAKYALA
“Omukyala asaanidde okussaamu ennyo mwami we ekitiibwa.”
“Mmwe abakyala, mugonderenga abaami bammwe nga bwe kigwanira mu Mukama waffe.”
ABAANA
“Abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu Mukama waffe kubanga kino kya butuukirivu. ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa’ kye kiragiro ekisooka ekiriko ekisuubizo nti: ‘Osobole okubeera obulungi era owangaale ku nsi.’ ”
“Mmwe abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu buli kimu, kubanga kino kisanyusa Mukama waffe.”