EKIBUUZO 2
Oyinza Otya Okuyiga Ebikwata ku Katonda?
“Ekitabo kino eky’Amateeka tekivanga ku mimwa gyo, era onookisomanga n’okifumiitirizangako emisana n’ekiro, osobole okukolera ku ebyo byonna ebikirimu; olwo lw’onootuuka ku buwanguzi era ne weeyisa mu ngeri ey’amagezi.”
“Beeyongera okusoma ekitabo, kwe kugamba, Amateeka ga Katonda ow’amazima, mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bagannyonnyola bulungi era ne baggyayo amakulu; bwe batyo ne bayamba abantu okutegeera ebyali bisomebwa.”
“Alina essanyu omuntu atakolera ku magezi g’ababi, wadde okuyimirira mu kkubo ly’aboonoonyi . . . , naye amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa, era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro. . . . Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.”
“Firipo n’adduka n’atuuka okumpi n’eggaali n’amuwulira ng’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya mu ddoboozi eriwulikika, n’amubuuza nti: ‘Ddala otegeera by’osoma?’
N’amuddamu nti: ‘Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annyinyonnyodde?’ ”
“Engeri ze ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’Obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa, ne kiba nti tebalina kya kwekwasa.”
“Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.”
“Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu.”
“Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe eyeetaaga amagezi, asabenga Katonda, kubanga agabira bonna nga talina gw’akambuwalira; era gajja kumuweebwa.”