EKIBUUZO 16
Oyinza Otya Okwaŋŋanga Ebikweraliikiriza mu Bulamu?
“Omugugu gwo gutikke Yakuwa, era naye anaakuwaniriranga. Talireka mutuukirivu kugwa.”
“Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi, naye abo bonna abapapa bajja kwavuwala.”
“Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba, nja kukuwanirira n’omukono gwange ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.”
“Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongerako wadde akatono ku kiseera ky’obulamu bwe?”
“Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’ebyeraliikiriza ebyalwo. Buli lunaku luba n’emitawaana egirumala.”
“Musobole okumanya ebintu ebisinga obukulu.”
“Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.”