1 Abassessalonika 3:1-13
3 N’olwekyo, bwe twali nga tetukyasobola kukigumiikiriza twasalawo okusigala ffekka mu Asene;+
2 era twatuma Timoseewo+ muganda waffe era omuweereza wa Katonda* alangirira amawulire amalungi agakwata ku Kristo, abanyweze* era ababudeebude, okukkiriza kwammwe kusobole okweyongera okunywera,
3 waleme kubaawo n’omu ayuuzibwayuuzibwa olw’okubonaabona kuno. Kubanga mukimanyi nti ebintu bino birina okututuukako.+
4 Mu butuufu, bwe twali nammwe twababuulirirawo nti tulina okubonaabona, era ekyo kyennyini kye kibaddewo, nga bwe mukimanyi.+
5 Eyo ye nsonga lwaki bwe nnali sikyasobola kukigumiikiriza, nnamutuma nsobole okumanya ebikwata ku bwesigwa bwammwe,+ si kulwa nga mu ngeri emu oba endala Omukemi+ yabakema, okufuba kwaffe ne kuba kwa bwereere.
6 Naye Timoseewo yaakakomawo gye tuli ng’ava eyo+ era atubuulidde amawulire amalungi agakwata ku bwesigwa bwammwe n’okwagala kwammwe, era nti bulijjo mutujjukira era nti mwagala nnyo okutulaba nga naffe bwe twagala okubalaba.
7 Ab’oluganda, wadde nga twolekagana n’ebizibu* era nga tubonaabona, tubudaabudiddwa olw’obwesigwa bwe mulaga.+
8 Kubanga tuddamu amaanyi* bwe munywerera ku Mukama waffe.
9 Katonda tunaamuwa ki okumwebaza olw’essanyu lye tulina mu maaso ge ku lwammwe?
10 Ekiro n’emisana tumwegayirira nnyo tusobole okuddamu okubalaba n’okujjuuliriza ekyo ekibula ku kukkiriza kwammwe.+
11 Kaakano Katonda waffe era Kitaffe ne Mukama waffe Yesu ka batuteerewo ekkubo tusobole okujja gye muli.
12 Ate era, Mukama waffe abasobozese okwongera ku kwagala buli omu kw’alina eri munne+ era n’eri abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, era okwagala okwo kubeere kungi nnyo,
13 alyoke anyweze emitima gyammwe, abafuule abataliiko kya kunenyezebwa era abatukuvu mu maaso ga Katonda waffe+ era Kitaffe mu kiseera ky’okubeerawo kwa Mukama waffe Yesu+ ng’ali n’abatukuvu be bonna.
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “oyo akolera awamu ne Katonda.”
^ Oba, “abazzeemu amaanyi.”
^ Obut., “n’obwetaavu.”
^ Obut., “tuba balamu.”