1 Bassekabaka 8:1-66

  • Essanduuko etwalibwa mu yeekaalu (1-13)

  • Sulemaani ayogera eri abantu (14-21)

  • Essaala ya Sulemaani nga yeekaalu eweebwayo (22-53)

  • Sulemaani awa abantu omukisa (54-61)

  • Ssaddaaka n’embaga ey’okutongoza yeekaalu (62-66)

8  Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya+ abakadde ba Isirayiri, abakulu b’ebika bonna, abaami b’ennyumba za bakitaabwe ba Isirayiri.+ Bajja eri Kabaka Sulemaani e Yerusaalemi okuleeta essanduuko y’endagaano ya Yakuwa nga bagiggya mu Kibuga kya Dawudi,+ kwe kugamba, Sayuuni.+  Abasajja ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira mu maaso ga Kabaka Sulemaani ku mbaga* mu mwezi gwa Esanimu,* nga gwe mwezi ogw’omusanvu.+  Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bajja, era bakabona ne basitula Essanduuko.+  Baaleeta Essanduuko ya Yakuwa, weema ey’okusisinkaniramu,+ n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona n’Abaleevi baabireeta.  Kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri abaali bayitiddwa okumusisinkana, baali mu maaso g’Essanduuko. Endiga n’ente nnyingi nnyo zaassaddaakibwa,+ ne kiba nti kyali tekisoboka kumanya muwendo gwazo wadde okuzibala.  Awo bakabona ne baleeta essanduuko y’endagaano ya Yakuwa mu kifo kyayo,+ mu kisenge ky’ennyumba ekisingayo okuba munda, Awasinga Obutukuvu, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi.+  Bakerubi baali banjululizza ebiwaawaatiro byabwe waggulu w’ekifo Essanduuko we yali, ne kiba nti baali babikkiridde Essanduuko n’emisituliro gyayo.+  Naye emisituliro+ gyali miwanvu nnyo, ng’omuntu ali Awatukuvu mu maaso g’ekisenge ekisingayo okuba munda asobola okulaba emitwe gyagyo, naye ng’ali ebweru tasobola kugiraba; era emisituliro egyo gikyali eyo n’okutuusa leero.  Mu Ssanduuko temwalimu kintu kirala kyonna, okuggyako ebipande by’amayinja ebibiri+ Musa bye yateekeramu+ e Kolebu, Yakuwa bwe yakola endagaano+ n’abantu ba Isirayiri bwe baali nga bava mu nsi ya Misiri.+ 10  Bakabona bwe baafuluma mu kifo ekitukuvu, ekire+ ne kijjula ennyumba ya Yakuwa.+ 11  Bakabona tebaasobola kweyongera kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Yakuwa kyajjula ennyumba ya Yakuwa.+ 12  Awo Sulemaani n’agamba nti: “Ai Yakuwa, wagamba nti wali wa kubeeranga mu kire ekikutte.+ 13  Kaakano nkuzimbidde ennyumba ey’ekitiibwa, ekifo eky’enkalakkalira mw’onoobeeranga emirembe gyonna.”+ 14  Awo kabaka n’akyuka n’asabira ekibiina kyonna ekya Isirayiri omukisa, ng’ekibiina kyonna kiyimiridde.+ 15  N’agamba nti: “Atenderezebwe Yakuwa Katonda wa Isirayiri eyasuubiza Dawudi kitange n’akamwa ke, era mu buyinza bwe atuukirizza kye yasuubiza ng’agamba nti, 16  ‘Okuva ku lunaku lwe nnaggya abantu bange mu nsi ya Misiri, sirondanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe baba bazimbira erinnya lyange ennyumba libeere omwo,+ naye nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’ 17  Ate era Dawudi kitange yakyagala nnyo mu mutima gwe okuzimba ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri.+ 18  Naye Yakuwa n’agamba Dawudi kitange nti, ‘Oyagala nnyo mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange ennyumba, era okoze bulungi okwagala ekintu kino mu mutima gwo. 19  Naye si ggwe ojja okuzimba ennyumba eyo, wabula omwana wo anaakuzaalirwa* y’ajja okuzimbira erinnya lyange ennyumba.’+ 20  Yakuwa yatuukiriza kye yasuubiza, kubanga nnasikira Dawudi kitange era ntudde ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri nga Yakuwa bwe yasuubiza. Ate era nzimbye ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri,+ 21  era ntaddemu ekifo ky’Essanduuko erimu endagaano+ Yakuwa gye yakola ne bajjajjaffe ng’abaggya mu nsi ya Misiri.” 22  Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Yakuwa, mu maaso g’ekibiina kya Isirayiri kyonna, n’agolola emikono gye eri eggulu,+ 23  n’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi tewali Katonda alinga ggwe,+ akuuma endagaano era alaga okwagala okutajjulukuka+ abaweereza bo abakuweereza n’omutima gwabwe gwonna.+ 24  Otuukirizza kye wasuubiza Dawudi kitange omuweereza wo. Wasuubiza ng’oyogera n’akamwa ko, era leero mu buyinza bwo otuukirizza kye wasuubiza.+ 25  Kaakano Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, tuukiriza kye wasuubiza Dawudi kitange omuweereza wo bwe wagamba nti: ‘Mu maaso gange tewaalemenga kubaawo musajja wa mu lunyiriri lwo atuula ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri, singa abaana bo baneegenderezanga ekkubo lyabwe ne batambulira mu maaso gange, nga ggwe bw’otambulidde mu maaso gange.’+ 26  Kale nno, Ai Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde, ekisuubizo kye wasuubiza omuweereza wo Dawudi kitange ka kituukirire. 27  “Naye ddala Katonda anaabeera ku nsi?+ Laba! Eggulu, eggulu erisingayo okuba waggulu toligyaamu;+ olwo eno ennyumba gye nzimbye mw’onoogya?+ 28  Kaakano ssaayo omwoyo eri essaala y’omuweereza wo n’okwegayirira kwe, Ai Yakuwa Katonda wange, era wulira okuwanjaga n’essaala omuweereza wo gy’asaba mu maaso go leero. 29  Amaaso go gatunuulirenga ennyumba eno emisana n’ekiro, gatunuulirenga ekifo kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo,’+ owulirize essaala omuweereza wo gy’asaba ng’atunudde eri ekifo kino.+ 30  Ate era wulirizanga okwegayirira kw’omuweereza wo n’okw’abantu bo Abayisirayiri, bwe banaasabanga nga batunudde eri ekifo kino, owulirenga ng’oyima mu kifo ky’obeeramu mu ggulu;+ wuliranga era osonyiwe.+ 31  “Omuntu bw’anaakolanga munne ekibi n’alayizibwa,* n’aba ng’avunaanyizibwa olw’ebyo by’alayidde, n’ajja mu maaso g’ekyoto kyo mu nnyumba eno olw’ekirayiro* ekyo,+ 32  owuliranga ng’oyima mu ggulu, n’obaako ky’okolawo n’olamula abaweereza bo, omubi n’omusingisa omusango era n’omubonereza okusinziira ku bibi bye yakola, ate n’okiraga nti omutuukirivu taliiko musango,* era n’omuwa empeera okusinziira ku butuukirivu bwe.+ 33  “Abantu bo Abayisirayiri bwe banaawangulwanga omulabe olw’okuba banaabanga boonoonye mu maaso go,+ naye ne badda gy’oli ne batendereza erinnya lyo,+ ne basaba era ne beegayirira obakwatirwe ekisa mu nnyumba eno,+ 34  owuliranga ng’oyima mu ggulu, n’osonyiwa abantu bo Isirayiri ekibi kyabwe n’obakomyawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.+ 35  “Eggulu bwe linaasibwanga, enkuba n’etatonnya+ olw’okuba banaabanga boonoonye mu maaso go,+ naye ne basaba nga batunudde eri ekifo kino, ne batendereza erinnya lyo era ne baleka ekibi kyabwe olw’okuba onoobanga obatoowazza,*+ 36  owuliranga ng’oyima mu ggulu, n’osonyiwa abaweereza bo, abantu bo Isirayiri ekibi kyabwe, kubanga ojja kubayigiriza+ ekkubo eddungi lye balina okutambuliramu; era otonnyesanga enkuba ku nsi yo+ gye wawa abantu bo okuba obusika. 37  “Bwe wanaabangawo enjala mu nsi,+ oba endwadde, oba okubabuka n’okugengewala kw’ebirime,+ oba enzige ezitambulira mu bibinja, oba enzige* ezirya ennyo; oba abalabe baabwe bwe banaabazingizanga mu kibuga kyonna eky’omu nsi yaabwe,* oba bwe wanaabangawo ekibonyoobonyo eky’engeri yonna oba endwadde ey’engeri yonna,+ 38  omuntu yenna oba abantu bo bonna Isirayiri kye banaakusabanga kyonna oba kye banaakwegayiriranga+ okubakolera, (kubanga buli omu amanyi ekimuluma mu mutima gwe)+ bwe banaagololanga emikono gyabwe okwolekera ennyumba eno, 39  owuliranga ng’oyima mu ggulu, ekifo ky’obeeramu,+ n’osonyiwa+ era n’obaako ky’okolawo, era n’owa buli omu okusinziira ku makubo ge gonna,+ kubanga omanyi omutima gwe (kubanga ggwe wekka amanyi omutima gwa buli muntu),+ 40  balyoke bakutye ennaku zonna ze banaabeera mu nsi gye wawa bajjajjaffe. 41  “N’omugwira atali omu ku bantu bo Isirayiri anaavanga mu nsi ey’ewala olw’erinnya* lyo,+ 42  (kubanga bajja kuwulira ebikwata ku linnya lyo ekkulu+ n’omukono gwo ogw’amaanyi era ogugoloddwa), n’ajja n’asaba ng’atunudde eri ennyumba eno, 43  owuliranga ng’oyima mu ggulu, ekifo ky’obeeramu,+ n’okola byonna omugwira by’akusaba, amawanga gonna mu nsi galyoke gamanye erinnya lyo era gakutye+ ng’abantu bo Isirayiri bwe bakutya, era gamanye nti erinnya lyo liri ku nnyumba eno gye nzimbye. 44  “Abantu bo bwe banaagendanga gy’onoobanga obasindise+ mu lutalo okulwanyisa omulabe waabwe, ne basaba+ Yakuwa nga batunudde eri ekibuga kino ky’olonze+ n’eri ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo,+ 45  owuliranga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oyima mu ggulu n’obayisa mu ngeri ey’obwenkanya. 46  “Bwe banaayonoonanga mu maaso go (kubanga teri muntu atayonoona),+ n’obasunguwalira era n’obawaayo eri omulabe, n’abatwala mu buwambe mu nsi ey’ewala oba ey’okumpi;+ 47  ne beekuba mu kifuba nga bali eyo mu nsi gye banaabanga batwaliddwa mu buwambe+ ne badda gy’oli+ ne bakusaba obakwatirwe ekisa nga bali mu nsi y’abo abaabawamba,+ nga bagamba nti, ‘Twayonoona, twasobya, era tweyisa bubi nnyo,’+ 48  ne badda gy’oli n’omutima gwabwe gwonna+ n’obulamu bwabwe bwonna, nga bali mu nsi y’abalabe baabwe abanaabanga babawambye, ne basaba nga batunudde eri ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, n’ekibuga kye walonda, n’ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo,+ 49  owuliranga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe ng’oyima mu ggulu, ekifo ky’obeeramu,+ n’obayisa mu ngeri ey’obwenkanya, 50  era n’osonyiwa abantu bo aboonoonye gy’oli, n’obasonyiwa ebibi byonna bye baakola mu maaso go. Ojja kubaleetera okusaasirwa abo abaabawamba, era bajja kubasaasira+ 51  (kubanga bwe busika bwo+ era abantu bo, be waggya mu nsi ya Misiri,+ mu kyoto mwe basaanuusiza ekyuma).+ 52  Amaaso go ka gatunuulire okwegayirira+ kw’omuweereza wo n’okwegayirira kw’abantu bo Isirayiri, owulirize buli lwe bakusaba.*+ 53  Kubanga wabaawula ku mawanga gonna ag’oku nsi,+ okuba obusika bwo, nga bwe wayogera ng’oyitira mu Musa omuweereza wo, bwe wali oggya bajjajjaffe e Misiri, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna.” 54  Sulemaani olwamala okusaba essaala eyo yonna eri Yakuwa n’okumwegayirira, n’ayimuka mu maaso g’ekyoto kya Yakuwa we yali afukamidde ng’agolodde emikono gye eri eggulu;+ 55  n’ayimirira n’asabira ekibiina kyonna ekya Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti: 56  “Yakuwa atenderezebwe, awadde abantu be Isirayiri emirembe nga bwe yasuubiza.+ Tewali kigambo na kimu kitatuukiridde ku birungi byonna bye yasuubiza okuyitira mu muweereza we Musa.+ 57  Yakuwa Katonda waffe k’abeerenga naffe nga bwe yabanga ne bajjajjaffe.+ K’alemenga okutuleka wadde okutwabulira.+ 58  K’asembeze emitima gyaffe gy’ali,+ tutambulire mu makubo ge gonna era tukwate ebiragiro bye n’amateeka ge, bye yawa bajjajjaffe. 59  Ebigambo byange bino bye njogedde nga nneegayirira Yakuwa ka bijjukirwenga Yakuwa Katonda waffe emisana n’ekiro, ayise omuweereza we n’abantu be Isirayiri mu ngeri ey’obwenkanya nga bwe kineetaagisanga buli lunaku, 60  amawanga gonna ag’oku nsi galyoke gamanye nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima.+ Teri mulala!+ 61  Kale omutima gwammwe ka gwemalire ku Yakuwa Katonda waffe,+ nga mutambulira mu mateeka ge era nga mukwata ebiragiro bye nga bwe mukola leero.” 62  Awo kabaka awamu ne Isirayiri yonna ne bawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo mu maaso ga Yakuwa.+ 63  Sulemaani yawaayo eri Yakuwa ente 22,000 n’endiga 120,000 nga ssaddaaka ez’emirembe.+ Bw’atyo kabaka n’Abayisirayiri bonna ne batongoza ennyumba ya Yakuwa.+ 64  Ku lunaku olwo kabaka yalina okutukuza wakati w’oluggya olwali mu maaso g’ennyumba ya Yakuwa, kubanga awo we yalina okuweerayo ssaddaaka ezookebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’amasavu ga ssaddaaka ez’emirembe, kubanga ekyoto eky’ekikomo+ ekiri mu maaso ga Yakuwa kyali tekigyaako ssaddaaka ezookebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’amasavu+ ga ssaddaaka ez’emirembe. 65  Mu kiseera ekyo Sulemaani ne Isirayiri yonna baakwata embaga+ mu maaso ga Yakuwa Katonda waffe okumala ennaku 7 n’endala 7, ze nnaku 14; ekibiina kyali kinene nnyo, era baali bava Lebo-kamasi* okutuukira ddala ku Kiwonvu* ky’e Misiri.+ 66  Ku lunaku olwaddirira* yasiibula abantu, abantu ne baagaliza kabaka emikisa ne baddayo mu maka gaabwe nga bajaganya era nga bawulira bulungi mu mitima olw’ebirungi+ Yakuwa bye yali akoledde Dawudi omuweereza we n’abantu be Isirayiri.

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, Embaga ey’Ensiisira.
Obut., “omwana wo anaava mu kiwato kyo.”
Oba, “munne n’amussaako ekikolimo.” Kino kyali kirayiro ekyabangako ekikolimo ng’ekibonerezo singa omuntu yalayiranga eby’obulimba oba n’atatuukiriza ky’alayidde.
Obut., “olw’ekikolimo.”
Obut., “nti omutuukirivu mutuukirivu.”
Oba, “obabonyaabonyezza.”
Oba, “enseenene.”
Obut., “mu nsi y’emiryango gye.”
Oba, “olw’ettutumu.”
Oba, “obawulirize mu buli kye bakusaba.”
Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
Laba Awanny.
Obut., “olw’omunaana,” kwe kubanga, olunaku olwaddirira ekiseera eky’ennaku omusanvu eky’okubiri.