1 Ebyomumirembe Ekisooka 14:1-17
14 Awo Kabaka Kiramu+ owa Ttuulo n’atuma ababaka eri Dawudi, n’amuweereza n’embaawo z’entolokyo, abazimbi abazimbisa amayinja,* n’ababazzi, bamuzimbire ennyumba.*+
2 Dawudi n’ategeera nti Yakuwa yali anywezezza obwakabaka bwe ku Isirayiri,+ kubanga yagulumiza obwakabaka bwe ku lw’abantu be Isirayiri.+
3 Dawudi n’awasa abakazi abalala+ mu Yerusaalemi, n’azaala abaana abalala ab’obulenzi n’ab’obuwala.+
4 Gano ge mannya g’abaana be yazaalira mu Yerusaalemi:+ Sammuwa, Sobabu, Nasani,+ Sulemaani,+
5 Ibukali, Eriswa, Erupereti,
6 Noga, Nefegi, Yafiya,
7 Erisaama, Beeriyada, ne Erifereti.
8 Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yali afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yonna,+ bonna ne bagenda okumunoonya.+ Dawudi bwe yakiwulira n’agenda okubalwanyisa.
9 Awo Abafirisuuti ne bagenda ne bazinda Ekiwonvu ky’Abaleefa.+
10 Dawudi ne yeebuuza ku Katonda ng’agamba nti: “Ŋŋende nnwanyise Abafirisuuti? Onoobawaayo mu mukono gwange?” Yakuwa n’amugamba nti: “Genda, nja kubawaayo mu mukono gwo.”+
11 Dawudi n’agenda e Bbaali-perazimu+ n’abalwanyisa n’abatta. Dawudi n’agamba nti: “Katonda ow’amazima ankulembeddemu n’awaguza mu balabe bange ng’amazzi agawaguza ng’akozesa omukono gwange.” Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo baakituuma Bbaali-perazimu.*
12 Abafirisuuti ne baleka eyo bakatonda baabwe. Dawudi n’alagira ne babookya.+
13 Oluvannyuma Abafirisuuti baddamu okuzinda ekiwonvu.+
14 Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Katonda, Katonda ow’amazima n’amugamba nti: “Tobalumba butereevu, wabula weetooloole obave emabega obalumbire mu maaso g’obuti bwa bbaka.+
15 Bw’onoowulira mu masanso g’obuti bwa bbaka omusinde gw’abatambula, awo ng’ogenda obalwanyisa, kubanga Katonda ow’amazima ajja kuba akukulembeddemu okutta eggye ly’Abafirisuuti.”+
16 Dawudi n’akola nga Katonda ow’amazima bwe yamulagira,+ ne batta eggye ly’Abafirisuuti okuva e Gibiyoni okutuuka e Gezeri.+
17 Ettutumu lya Dawudi ne libuna mu nsi zonna, era Yakuwa n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “abazimbi b’ebisenge.”
^ Oba, “olubiri.”
^ Litegeeza, “Mukama w’Okuwaguza.”