1 Ebyomumirembe Ekisooka 19:1-19
19 Nga wayiseewo ekiseera, Nakasi kabaka w’Abaamoni yafa, mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+
2 Awo Dawudi n’agamba nti: “Nja kulaga Kanuni mutabani wa Nakasi okwagala okutajjulukuka+ kubanga kitaawe yandaga okwagala okutajjulukuka.” Awo Dawudi n’atuma ababaka okumukubagiza olw’okufiirwa kitaawe. Naye abaweereza ba Dawudi bwe baatuuka mu nsi y’Abaamoni+ okukubagiza Kanuni,
3 abaami b’Abaamoni ne bagamba Kanuni nti: “Olowooza Dawudi okutuma abantu okukukubagiza, akikoze lwa kussaamu kitaawo kitiibwa? Olowooza abaweereza be tebazze kwetegereza n’okuketta ensi n’okukuggya mu buyinza?”
4 Awo Kanuni n’akwata abaweereza ba Dawudi n’abamwako ebirevu,+ ebyambalo byabwe n’abisala ne biba nga bikoma ku butuuliro, n’abaleka ne bagenda.
5 Dawudi bwe yategeezebwa ebyali bituuse ku basajja abo, amangu ago n’atuma ababaka okubasisinkana, kubanga baali baweebuddwa nnyo; kabaka n’abagamba nti: “Mubeere mu Yeriko+ okutuusa ng’ebirevu byammwe bimaze okukula, mulyoke mukomewo.”
6 Awo Abaamoni ne bakitegeera nti Dawudi yali abakyaye; Kanuni n’Abaamoni ne baweereza ttalanta* za ffeeza 1,000 okupangisa amagaali n’abeebagazi b’embalaasi okuva mu Mesopotamiya,* ne mu Alamu-maaka ne mu Zoba.+
7 Ne bapangisa amagaali 32,000 ne kabaka wa Maaka n’abantu be. Ne bajja ne basiisira mu maaso ga Medeba.+ Abaamoni nabo ne bava mu bibuga byabwe ne bakuŋŋaana wamu ne bajja okulwana.
8 Dawudi bwe yakiwulira, n’asindika Yowaabu+ n’eggye lyonna n’abalwanyi be abaali basinga okuba ab’amaanyi.+
9 Abaamoni ne bagenda ne basimba ennyiriri okulwana ku mulyango oguyingira mu kibuga, ate bo bakabaka abaali bazze baali bokka mu kyererezi.
10 Yowaabu bwe yalaba ng’abasirikale bamulumba okuva mu maaso n’emabega, n’alonda abamu ku balwanyi ba Isirayiri abaali basinga obulungi n’abasimbisa ennyiriri okwaŋŋanga Abasuuli.+
11 Abasajja abalala bonna n’abakwasa* Abisaayi+ muganda we abasimbise ennyiriri okwaŋŋanga Abaamoni.
12 N’agamba nti: “Abasuuli+ bwe banansinza amaanyi ojja kujja onnyambe; naye Abaamoni bwe banaakusinza amaanyi nja kujja nkuyambe.
13 Tube ba maanyi era tube bavumu+ tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe; Yakuwa ajja kukola ky’anaalaba nga kirungi mu maaso ge.”
14 Awo Yowaabu n’abasajja be ne basembera okulwana n’Abasuuli, Abasuuli ne bamudduka.+
15 Abaamoni bwe baalaba ng’Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda we ne bagenda mu kibuga. Awo Yowaabu n’agenda e Yerusaalemi.
16 Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri ebawangudde, ne batuma ababaka okuyita Abasuuli abaali mu kitundu ekiri okumpi n’Omugga,*+ nga Sofaki omukulu w’amagye ga Kadadezeri y’abakulembeddemu.+
17 Dawudi bwe yategeezebwa, amangu ago n’akuŋŋaanya Isirayiri yonna ne basomoka Yoludaani ne bagenda gye baali ne basimba ennyiriri okubalwanyisa. Dawudi bwe yasimbisa abalwanyi be ennyiriri okwaŋŋanga Abasuuli, Abasuuli ne balwana naye.+
18 Abasuuli bwe baalaba ng’Abayisirayiri babasinga amaanyi ne badduka; Dawudi n’atta Abasuuli abavuzi b’amagaali 7,000 n’abasirikale abatambuza ebigere 40,000 era n’atta ne Sofaki omukulu w’eggye lyabwe.
19 Abaweereza ba Kadadezeri bwe baalaba nga Isirayiri ebawangudde,+ amangu ago ne bakola endagaano ey’emirembe ne Dawudi, n’atandika okubafuga;+ Busuuli teyaddamu kwagala kuyamba Baamoni.
Obugambo Obuli Wansi
^ Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
^ Obut., “Alamu-nakalayimu.”
^ Obut., “n’abateeka mu mukono gwa.”
^ Omugga Fulaati.