1 Samwiri 14:1-52

  • Yonasaani alwana e Mikumasi (1-14)

  • Katonda afufuggaza abalabe ba Isirayiri (15-23)

  • Sawulo akola obweyamo nga tasoose kulowooza (24-46)

    • Abantu balya ennyama erimu omusaayi (32-34)

  • Entalo za Sawulo; ab’ennyumba ye (47-52)

14  Lwali lumu, Yonasaani+ mutabani wa Sawulo n’agamba omuweereza eyamusituliranga eby’okulwanyisa nti: “Jjangu tugende emitala awali enkambi y’Abafirisuuti.” Naye teyabuulira kitaawe.  Sawulo yali abeera ku njegoyego za Gibeya+ wansi w’omuti gw’enkomamawanga oguli mu Miguloni, era abantu abaali naye baali abasajja nga 600.+  (Akiya mutabani wa Akitubu,+ muganda wa Ikabodi,+ mutabani wa Fenekaasi,+ mutabani wa Eli,+ kabona wa Yakuwa mu Siiro,+ yali ayambadde efodi.)+ Abantu tebaamanya nti Yonasaani yali agenze.  Yonasaani we yali ayagala okuyita okutuuka ku nkambi y’Abafirisuuti waaliwo agayinja agasongovu eruuyi n’eruuyi; oguyinja ogumu gwali guyitibwa Bozezi, ate ng’ogulala guyitibwa Sene.  Oguyinja ogumu gwali ng’empagi ku luuyi olw’ebukiikakkono nga gutunudde e Mikumasi, ate ogulala gwali ku luuyi olw’ebukiikaddyo nga gutunudde e Geba.+  Awo Yonasaani n’agamba eyamusituliranga eby’okulwanyisa nti: “Jjangu tugende awali enkambi y’abasajja abo abatali bakomole.+ Oboolyawo Yakuwa anaatuyamba, kubanga tewali kiyinza kuziyiza Yakuwa kulokola ng’akozesa bangi oba batono.”+  Eyamusituliranga eby’okulwanyisa n’amugamba nti: “Kola kyonna omutima gwo kye gukukubiriza okukola. Genda yonna gy’oyagala; nja kugenda naawe yonna gy’onoogenda.”  Yonasaani n’agamba nti: “Tujja kugenda eri abasajja abo tweyoleke gye bali.  Bwe banaatugamba nti, ‘Muyimirire awo okutuusa lwe tunaabatuukako!’ olwo tunaayimirira we tunaaba tuli, ne tutagenda gye bali. 10  Naye bwe banaatugamba nti, ‘Mujje tulwane!’ awo nga twambuka, kubanga Yakuwa ajja kubagabula mu mukono gwaffe, era ako ke kanaaba akabonero gye tuli.”+ 11  Awo bombi ne beeyoleka eri abaali mu nkambi y’Abafirisuuti. Abafirisuuti ne bagamba nti: “Laba! Abebbulaniya bava mu binnya gye babadde beekwese.”+ 12  Awo abasajja abaali mu nkambi ne bagamba Yonasaani n’oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa nti: “Mujje gye tuli, tubayigirize essomo!”+ Awo Yonasaani n’agamba eyamusituliranga eby’okulwanyisa nti: “Ngoberera, kubanga Yakuwa ajja kubagabula mu mukono gw’Abayisirayiri.”+ 13  Yonasaani n’ayambuka ng’ayavula, ng’oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa ajja amuvaako emabega. Yonasaani n’agenda ng’abalwanyisa, era oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa n’abatta ng’amuvaako emabega. 14  Abo Yonasaani n’oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa be batta mu lulumba olwasooka, baali abasajja nga 20, era bonna baabattira mu kibangirizi nga kya kitundu kya yiika.* 15  Awo entiisa n’ebuna olusiisira olwali ku ttale era abantu bonna abaali mu nkambi ne batya nnyo, era n’ebibinja by’abazigu+ nabyo ne bitya nnyo. Ensi n’etandika okukankana, era entiisa eyo yali evudde eri Katonda. 16  Abakuumi ba Sawulo abaali mu Gibeya+ ekya Benyamini baalaba nti akakyankalano kaali kagenda kabuna olusiisira lwonna.+ 17  Sawulo n’agamba abantu abaali naye nti: “Mubale abantu, mulabe ani ataliiwo.” Bwe baabala, baakizuula nti Yonasaani n’oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa baali tebaliiwo. 18  Awo Sawulo n’agamba Akiya+ nti: “Muleete wano Essanduuko ya Katonda ow’amazima!” (Essanduuko ya Katonda ow’amazima yali mu mikono gy’Abayisirayiri mu kiseera ekyo.*) 19  Sawulo bwe yali ng’akyayogera ne kabona, akakyankalano akaali mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne keeyongerera ddala okuba ak’amaanyi. Sawulo n’agamba kabona nti: “Lekera awo ky’okola.”* 20  Awo Sawulo n’abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana, ne bagenda mu lutalo, ne basanga ng’Abafirisuuti battiŋŋanye n’ebitala, era ng’akakyankalano ka maanyi nnyo. 21  N’Abebbulaniya abaali beegatta ku Bafirisuuti era nga baali bazze nabo mu lusiisira badda ku ludda lw’Abayisirayiri abaali ne Sawulo ne Yonasaani. 22  Abasajja bonna aba Isirayiri abaali beekwese+ mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi bwe baawulira nti Abafirisuuti badduse, nabo ne beegatta ku baali babawondera mu lutalo. 23  Bw’atyo Yakuwa n’alokola Isirayiri ku lunaku olwo,+ olutalo ne lweyongerayo ne lutuukira ddala e Besi-aveni.+ 24  Naye abasajja ba Isirayiri baakoowa nnyo ku lunaku olwo, olw’okuba Sawulo yali alayizza abantu nti: “Omuntu yenna anaalya ku mmere* nga tebunnawungeera era nga sinnamaliriza kuwoolera ggwanga ku balabe bange, akolimirwe!” N’olwekyo tewali muntu yenna eyalya ku mmere.+ 25  Abantu bonna* bwe baatuuka mu kibira, baasanga ng’omubisi gw’enjuki mungi nnyo. 26  Baalaba omubisi gw’enjuki nga gutonnya, naye tewali n’omu yagulyako, olw’okuba baali batya ekirayiro. 27  Naye Yonasaani yali tawulidde nga kitaawe alayiza abantu,+ era bw’atyo n’addira akasongezo k’omuggo gwe yali akutte, n’akannyika mu mubisi gw’enjuki, n’aguggisaako engalo ze n’agukomba n’addamu amaanyi.* 28  Awo omu ku bantu n’amugamba nti: “Kitaawo yalayizza abantu nti, ‘Omuntu yenna anaalya ku mmere olwa leero, akolimirwe!’+ Eyo ye nsonga lwaki abantu bakooye nnyo.” 29  Kyokka, Yonasaani n’agamba nti: “Kitange aleetedde abantu obuzibu bwa maanyi nnyo.* Kale mulabe bwe nzizeemu amaanyi olw’okuba ndidde ku mubisi gw’enjuki. 30  Nga kyandibadde kirungi singa abantu tebaakugiddwa kulya+ ku munyago gw’abalabe baabwe gwe bafunye olwa leero! Bandisse Abafirisuuti bangi n’okusingawo.” 31  Ku lunaku olwo ne bagenda nga batta Abafirisuuti okuva e Mikumasi okutuuka e Ayalooni,+ era abantu ne bakoowa nnyo. 32  Abantu ne bagwa ku munyago n’amaddu mangi, ne bakwata endiga n’ente n’ennyana, ne bazittira wansi ku ttaka, ne balya ennyama ng’erimu n’omusaayi.+ 33  Awo ne wabaawo abategeeza Sawulo nti: “Abantu boonoona mu maaso ga Yakuwa nga balya ennyama erimu omusaayi.”+ N’agamba nti: “Temwolese kukkiriza. Munjiringisize wano ejjinja eddene.” 34  Sawulo n’alyoka agamba nti: “Mugende eri abantu mubagambe nti, ‘Buli omu ku mmwe aleete ente ye n’endiga ye, muzittire wano mulye. Temwonoona mu maaso ga Yakuwa nga mulya ennyama erimu omusaayi.’”+ Ekiro ekyo buli muntu yaleeta ente ye n’agittira awo. 35  Sawulo n’azimbira Yakuwa ekyoto.+ Ekyo kye kyoto kye yasooka okuzimbira Yakuwa. 36  Oluvannyuma Sawulo yagamba nti: “Tugende tuwondere Abafirisuuti ekiro, era tubanyage okutuusa ku makya. Tujja kubatta bonna obutalekaawo n’omu.” Ne bamuddamu nti: “Kola kyonna ky’olaba nga kirungi mu maaso go.” Awo kabona n’agamba nti: “Ka twebuuze ku Katonda ow’amazima wano.”+ 37  Sawulo ne yeebuuza ku Katonda nti: “Mpondere Abafirisuuti?+ Onoobawaayo mu mukono gwa Isirayiri?” Naye Katonda n’atamuddamu ku lunaku olwo. 38  Sawulo n’agamba nti: “Mujje wano mmwe mmwenna abakulira abantu, munoonyereze mulabe ekibi ekikoleddwa olwa leero. 39  Yakuwa eyanunula Isirayiri nga bw’ali omulamu, ne bw’anaaba Yonasaani mutabani wange nga y’aviiriddeko ekibi kino, taaleme kufa.” Naye tewaaliwo n’omu ku bantu eyamuddamu. 40  Awo n’agamba Isirayiri yonna nti: “Mmwe mubeere ku ludda lumu, ate nze ne mutabani wange Yonasaani tubeere ku ludda olulala.” Awo abantu ne bagamba Sawulo nti: “Kola kyonna ky’olaba nga kye kirungi mu maaso go.” 41  Sawulo n’agamba Yakuwa nti: “Ai Katonda wa Isirayiri, nziraamu okuyitira mu Sumimu!”+ Awo Sumimu n’eronda Yonasaani ne Sawulo, abantu ne bejjeerezebwa. 42  Sawulo n’agamba nti “Mukube akalulu+ mulondewo ku nze ne mutabani wange Yonasaani.” Akalulu ne kagwa ku Yonasaani. 43  Awo Sawulo n’abuuza Yonasaani nti: “Mbuulira, kiki ky’okoze?” Yonasaani n’amugamba nti: “Nnakombyeeko katono ku mubisi gw’enjuki ogwabadde ku kasongezo k’omuggo gwe nnabadde nkutte.+ Nzuuno! Ndi mwetegefu okufa!” 44  Awo Sawulo n’agamba nti: “Yonasaani, Katonda ambonereze era ayongere ku kibonerezo kyange bw’otoofe.”+ 45  Naye abantu ne bagamba Sawulo nti: “Ddala Yonasaani afe, aleetedde Isirayiri obuwanguzi* buno obw’amaanyi?+ Ekyo kikafuuwe! Nga Yakuwa bw’ali omulamu, tewaabe wadde oluviiri olumu olunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga Katonda y’amuyambye okukola kino ky’akoze olwa leero.”+ Bwe batyo abantu ne bawonya* Yonasaani, era teyattibwa. 46  Awo Sawulo n’alekera awo okuwondera Abafirisuuti, Abafirisuuti nabo ne baddayo mu kitundu kyabwe. 47  Sawulo n’anywereza ddala obufuzi bwe mu Isirayiri, n’alwanyisa abalabe be bonna abaali bamwetoolodde; yalwanyisa Abamowaabu,+ n’Abaamoni,+ n’Abeedomu,+ ne bakabaka ba Zoba,+ n’Abafirisuuti;+ era buli gye yagendanga yabawangulanga. 48  Yalwana mu ngeri ey’obuzira n’awangula Abamaleki+ era n’anunula Isirayiri mu mukono gw’abo abaabanyaganga. 49  Bano be baali batabani ba Sawulo: Yonasaani, Isuvi, ne Malukisuwa.+ Ate era yalina bawala be babiri; omubereberye yali ayitibwa Merabu,+ ate omuto ng’ayitibwa Mikali.+ 50  Mukazi wa Sawulo yali ayitibwa Akinowamu muwala wa Akimaazi, ate omukulu w’eggye lye yali ayitibwa Abuneeri,+ mutabani wa Neeri, muganda wa taata wa Sawulo. 51  Kiisi+ ye yali taata wa Sawulo, ate Neeri+ taata wa Abuneeri yali mutabani wa Abiyeeri. 52  Mu kiseera ky’obufuzi bwa Sawulo waalingawo entalo ez’amaanyi wakati we n’Abafirisuuti.+ Sawulo bwe yalabanga omusajja ow’amaanyi oba omuzira, ng’amuyingiza mu ggye lye.+

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, ekitundu ky’ennimiro omugogo gw’ente kye gusobola okulima olunaku.
Obut., “ku lunaku olwo.”
Obut., “Ggyayo omukono gwo.”
Obut., “mugaati.”
Obut., “Ensi yonna.”
Obut., “amaaso ge ne gaakaayakana.”
Oba, “okuboolebwa.”
Oba, “obulokozi.”
Obut., “banunula.”