1 Samwiri 15:1-35

  • Sawulo ajeema n’atatta Agagi (1-9)

  • Samwiri anenya Sawulo (10-23)

    • “Okuba omuwulize kisinga ssaddaaka” (22)

  • Sawulo aggibwako obwakabaka (24-29)

  • Samwiri atta Agagi (30-35)

15  Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Yakuwa yantuma okukufukako amafuta obeere kabaka w’abantu be Abayisirayiri;+ kale kaakano wuliriza Yakuwa ky’agamba.+  Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: ‘Nja kuwoolera eggwanga ku Bamaleki olw’ekyo kye baakola Abayisirayiri, bwe baabalwanyisa nga bava e Misiri.+  Kaakano genda otte Abamaleki+ obazikirize+ awamu ne byonna bye balina. Tobasaasira;* ojja kutta+ abasajja n’abakazi, abaana abato n’abawere, ente n’endiga, eŋŋamira n’endogoyi.’”+  Awo Sawulo n’ayita abantu n’ababalira e Terayimu. Abasirikale abatambuza ebigere baali 200,000 ate abasajja ba Yuda baali 10,000.+  Awo Sawulo n’agenda n’atuuka ku kibuga kya Amaleki n’ateegera okumpi n’ekiwonvu.*  Sawulo n’agamba Abakeeni+ nti: “Muve mu Bamaleki mugende, nneme okubazikiririza awamu nabo,+ kubanga mwalaga abantu ba Isirayiri bonna okwagala okutajjulukuka+ nga bava e Misiri.” Awo Abakeeni ne bava mu Bamaleki.  Oluvannyuma Sawulo n’atta Abamaleki+ okuva e Kavira+ okutuukira ddala e Ssuuli,+ ekiriraanye Misiri.  Yakwata Agagi+ kabaka w’Abamaleki nga mulamu, naye abantu abalala bonna n’abazikiriza n’ekitala.+  Naye Sawulo n’abantu baataliza* Agagi n’ebisingayo obulungi mu bisibo ne mu magana, ensolo engevvu, endiga ennume, n’ebintu byonna ebyali ebirungi.+ Tebaayagala kubizikiriza. Naye ebintu byonna ebitaalina mugaso n’ebiteetaagibwa baabizikiriza. 10  Awo Yakuwa n’agamba Samwiri nti: 11  “Nnejjusa* olw’okufuula Sawulo kabaka, kubanga alekedde awo okungoberera, era takoze bye nnagamba.”+ Samwiri n’anakuwala nnyo, era n’akaabirira Yakuwa ekiro kyonna.+ 12  Samwiri bwe yagolokoka ku makya ennyo okugenda okusisinkana Sawulo, ne bamutegeeza nti: “Sawulo yagenze Kalumeeri,+ era yeezimbidde eyo ekijjukizo.+ Awo Samwiri n’akyusa n’agenda e Girugaali.” 13  Oluvannyuma Samwiri bwe yagenda eri Sawulo, Sawulo n’amugamba nti: “Yakuwa akuwe omukisa. Nkoze Yakuwa bye yagamba.” 14  Kyokka Samwiri n’amugamba nti: “Lwaki ate mpulira endiga ezikaaba, n’ente eziŋooŋa?”+ 15  Sawulo n’amuddamu nti: “Zaggiddwa ku Bamaleki, kubanga abantu baatalizza* ebisingayo obulungi mu magana ne mu bisibo, babiweeyo nga ssaddaaka eri Yakuwa Katonda wo; naye ebyasigaddewo twabizikirizza.” 16  Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Koma awo! Ka nkubuulire Yakuwa kye yaŋŋambye ekiro.”+ Awo n’amuddamu nti: “Yogera!” 17  Samwiri n’agamba nti: “Wali teweenyooma+ we wafuukira omukulu w’ebika bya Isirayiri, era ne Yakuwa we yakufukirako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri?+ 18  Oluvannyuma Yakuwa yakutuma okukola omulimu n’akugamba nti, ‘Genda ozikirize Abamaleki+ aboonoonyi. Balwanyise okutuusa lw’onoobamalirawo ddala.’+ 19  Kati olwo lwaki tewagondedde ddoboozi lya Yakuwa, wabula n’ogwa ku munyago+ n’amaddu, n’okola ekintu ekibi mu maaso ga Yakuwa?” 20  Kyokka, Sawulo n’agamba Samwiri nti: “Naye nnagondedde eddoboozi lya Yakuwa, kubanga nnagenze ne nkola Yakuwa bye yantuma okukola ne ndeeta Agagi kabaka w’Abamaleki, era ne nzikiriza Abamaleki.+ 21  Naye abantu baggye ku munyago endiga n’ente ebyabadde bisinga obulungi mu ebyo ebyabadde eby’okuzikirizibwa, babiweeyo nga ssaddaaka eri Yakuwa Katonda wo e Girugaali.”+ 22  Awo Samwiri n’agamba nti: “Yakuwa asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka+ nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Yakuwa? Okuba omuwulize kisinga ssaddaaka,+ n’okussaayo omwoyo kisinga amasavu+ g’endiga ennume; 23  kubanga obujeemu+ bwenkanankana n’ekibi eky’obulaguzi,+ n’okwetulinkiriza kwenkanankana n’okukozesa eddogo era n’okusinza ebifaananyi.* Nga bw’ojeemedde ekigambo kya Yakuwa,+ naye akuggyeeko obwakabaka.”+ 24  Awo Sawulo n’agamba Samwiri nti: “Nnyonoonye, kubanga njeemedde ekiragiro kya Yakuwa n’ebigambo byo; olw’okuba nnatidde abantu ne mpuliriza bye baagambye. 25  Kaakano nkwegayiridde nsonyiwa ekibi kyange, era oddeyo nange nvunname mu maaso ga Yakuwa.”+ 26  Naye Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Siddayo naawe, kubanga weesambye ekigambo kya Yakuwa; Yakuwa naye akwesambye, era tojja kweyongera kuba kabaka wa Isirayiri.”+ 27  Samwiri bwe yali akyuka okugenda, Sawulo n’akwata ekirenge ky’ekizibaawo kye ekitaliiko mikono, ne kiyulika. 28  Awo Samwiri n’amugamba nti: “Yakuwa akuggyeeko* obwakabaka bwa Isirayiri olwa leero, era ajja kubuwa omuntu omulala akusinga.+ 29  Ate era Katonda wa Isirayiri ow’Ekitiibwa+ tajja kulimba+ oba okukyusa ekirowoozo kye,* kubanga si muntu okukyusa ekirowoozo kye.”*+ 30  Awo Sawulo n’agamba nti: “Nnyonoonye. Naye nkwegayiridde ngulumiza mu maaso g’abakadde b’abantu bange ne mu maaso ga Isirayiri, oddeyo nange nvunname mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.”+ 31  Awo Samwiri n’addayo ne Sawulo, Sawulo n’avunnama mu maaso ga Yakuwa. 32  Samwiri n’agamba nti: “Mundeetere wano Agagi kabaka wa Amaleki.” Awo Agagi n’agenda w’ali ng’asikattira,* kubanga emabegako yali alowooza nti: ‘Mazima ddala sikyafudde.’ 33  Kyokka, Samwiri n’agamba nti: “Ng’ekitala kyo bwe kyaleka abakazi abazadde nga tebalina baana, bw’atyo ne nnyoko bw’anaaba nga talina mwana.” Awo Samwiri n’atemaatema Agagi mu maaso ga Yakuwa e Girugaali.+ 34  Awo Samwiri n’agenda e Laama, ate Sawulo n’agenda ewuwe e Gibeya ekya Sawulo. 35  Samwiri yanakuwalira nnyo Sawulo, era Samwiri teyaddamu kulaba Sawulo okutuusa ku lunaku lwe yafa.+ Yakuwa yejjusa olw’okuba yafuula Sawulo kabaka wa Isirayiri.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Tobataliza.”
Laba Awanny.
Oba, “baasaasira.”
Oba, “Ndi munakuwavu.”
Oba, “baasaasidde.”
Obut., “ebifaananyi bya baterafi,” kwe kugamba, bakatonda b’awaka; ebifaananyi ebisinzibwa.
Obut., “akuyuzizzaako.”
Oba, “okwejjusa.”
Oba, “okwejjusa.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “nga mugumu.”