1 Samwiri 21:1-15
21 Oluvannyuma Dawudi yagenda e Nobu+ eri Akimereki kabona. Akimereki bwe yalaba Dawudi n’atya, era n’amubuuza nti: “Lwaki oli wekka, era lwaki toli na muntu yenna?”+
2 Awo Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti: “Kabaka alina ky’antumye okukola, naye aŋŋambye nti, ‘Tewaba muntu yenna amanya kye nkutumye okukola, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Ndagaanye n’abasajja bange mbeeko we mbasisinkana.
3 Bw’oba olinawo emigaati etaano gimpe, oba mpa ekirala kyonna ekiriwo.”
4 Naye kabona n’agamba Dawudi nti: “Tewali migaati gya bulijjo, emigaati emitukuvu gye giriwo,+ kasita abasajja bo baba nga babadde beewala okwegatta n’abakazi.”+
5 Dawudi n’addamu kabona nti: “Tubadde tetwegatta na bakazi nga bwe kibadde ku mirundi emirala nga ŋŋenze okutabaala.+ Bwe kiba nti abasajja bange beekuuma nga batukuvu ne bwe baba ku mirimu egya bulijjo, kati tebaasingewo nnyo okuba abatukuvu leero nga bali ku mulimu ogw’enjawulo!”
6 Awo kabona n’amuwa emigaati emitukuvu,+ kubanga tewaaliwo migaati mirala okuggyako emigaati egy’okulaga egyali giggiddwa mu maaso ga Yakuwa, ku lunaku lwe gyaggibwawo basseewo emiggya.
7 Omu ku baweereza ba Sawulo yaliwo ku lunaku olwo, ng’alina ebyali bimwetaagisizza okusigala mu maaso ga Yakuwa. Omuweereza oyo yali ayitibwa Dowegi+ Omwedomu,+ era ye yali akulira abasumba ba Sawulo.
8 Awo Dawudi n’agamba Akimereki nti: “Wano olinawo effumu lyonna oba ekitala? Sireese kitala kyange wadde eby’okulwanyisa byange ebirala, kubanga kabaka ky’antumye okukola kibadde kya mangu.”
9 Awo kabona n’amugamba nti: “Ekitala kya Goliyaasi+ Omufirisuuti gwe wattira mu Kiwonvu Ela+ kiri wano emabega wa efodi,+ kizingiddwa mu lugoye. Bw’oba oyagala okukitwala, kitwale, kubanga kye kiriwo kyokka.” Awo Dawudi n’amugamba nti: “Tewali kikyenkana. Kimpe.”
10 Ku lunaku olwo Dawudi yeeyongera okudduka+ olwa Sawulo, era oluvannyuma n’atuuka eri Kabaka Akisi owa Gaasi.+
11 Abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti: “Ono si ye Dawudi kabaka w’ensi ya Isirayiri? Ono si gwe baayimbira nga bwe bazina, nga bagamba nti,
‘Sawulo asse enkumi,Ne Dawudi asse emitwalo’?”+
12 Dawudi yalowooza ku bigambo ebyo, ne kimuleetera okutya ennyo+ Kabaka Akisi owa Gaasi.
13 Awo ne yeefuula ng’omulalu+ ng’ali mu maaso gaabwe, era ne yeeyisa ng’omulalu ng’ali awo mu bo.* Yali akolobozakoloboza ku nzigi z’omulyango gw’ekibuga, era ng’akulukusa endusu ku kirevu kye.
14 Awo Akisi n’agamba abaweereza be nti: “Mulaba omusajja mulalu! Lwaki mumuleese gye ndi?
15 Mulabye nga mbuliddwa abalalu, mulyoke mundeetere omusajja ono okulalukira mu maaso gange? Omusajja ono asaanidde okujja mu nnyumba yange?”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ng’ali mu mukono gwabwe.”