1 Samwiri 9:1-27
-
Samwiri asisinkana Sawulo (1-27)
9 Waaliwo omusajja omugagga ennyo ow’omu kika kya Benyamini eyali ayitibwa Kiisi,+ mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini.+
2 Yalina mutabani we eyali ayitibwa Sawulo,+ eyali omuvubuka, era ng’alabika bulungi nnyo; tewaaliwo musajja yenna mu Bayisirayiri eyali amusinga okulabika obulungi. Okuva ku bibegaabega bye okudda waggulu yali asinga abantu bonna obuwanvu.
3 Endogoyi* za Kiisi kitaawe wa Sawulo bwe zaabula, Kiisi n’agamba Sawulo mutabani we nti: “Genda n’omu ku baweereza munoonye endogoyi.”
4 Awo ne bayita mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi ne mu kitundu ky’e Salisa, ne batazisangayo. Baayita mu kitundu ky’e Saalimu naye tezaaliyo. Ne bayita ne mu kitundu ky’Ababenyamini naye ne batazisangayo.
5 Bwe baatuuka mu kitundu ky’e Zufu, Sawulo n’agamba omuweereza eyali naye nti: “Jjangu tuddeyo, kitange aleme kutandika kweraliikirira ffe mu kifo ky’okweraliikirira endogoyi.”+
6 Naye omuweereza n’amugamba nti: “Mu kibuga kino mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa. Buli ky’ayogera kituukirira.+ Ka tugendeyo, oboolyawo anaatubuulira ekkubo lye tusaanidde okukwata.”
7 Awo Sawulo n’agamba omuweereza we nti: “Naye bwe tuba ba kugenda, tunaatwalira ki omusajja oyo? Mu nsawo zaffe temuli mmere; tetulina kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda ow’amazima. Tulinawo ki?”
8 Awo omuweereza n’amuddamu nti: “Nnina ekitundu kimu kya kuna ekya sekeri* ya ffeeza. Nja kukiwa omusajja wa Katonda ow’amazima, era ajja kutubuulira ekkubo lye tuba tukwata.”
9 (Mu biseera eby’edda mu Isirayiri, omuntu bwe yabanga agenda okwebuuza ku Katonda yagambanga nti: “Mujje tugende eri omulabi.”+ Kubanga mu biseera ebyo nnabbi yayitibwanga mulabi.)
10 Awo Sawulo n’agamba omuweereza we nti: “Ky’oyogedde kirungi. Ka tugende.” Ne bagenda mu kibuga omwali omusajja wa Katonda ow’amazima.
11 Bwe baali bambuka mu kibuga, ne basanga abawala abaali bagenda okukima amazzi. Ne babuuza abawala nti: “Omulabi+ ali mu kifo kino?”
12 Ne babaddamu nti: “Yee. Ali mu maaso eyo gye mulaga. Mwanguwe, kubanga leero azze mu kibuga, olw’okuba leero abantu bagenda kuwaayo ssaddaaka+ ku kifo ekigulumivu.+
13 Bwe munaaba mwakatuuka mu kibuga, mujja kumusanga nga tannaba kugenda ku kifo ekigulumivu okulya. Abantu tebayinza kulya nga tannatuuka, okuva bwe kiri nti y’asabira ssaddaaka omukisa. Bw’amala okusaba, ng’abayitiddwa balya. Kale mwambuke, mujja kumusanga.”
14 Awo ne bambuka mu kibuga. Bwe baali banaatera okutuuka mu kibuga wakati, ne basisinkana Samwiri ng’ajja gye bali bambuke bonna ku kifo ekigulumivu.
15 Bwe waali wakyabulayo olunaku lumu Sawulo ajje, Yakuwa yagamba* Samwiri nti:
16 “Enkya mu kiseera nga kino, nja kukusindikira omusajja okuva mu kitundu kya Benyamini.+ Ojja kumufukako amafuta abe omukulembeze w’abantu bange Abayisirayiri,+ era ajja kununula abantu bange mu mukono gw’Abafirisuuti. Kubanga ndabye okubonaabona kw’abantu bange, era okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”+
17 Samwiri bwe yalaba Sawulo, Yakuwa n’amugamba nti: “Oyo ye musajja gwe nnakugambyeko nti, ‘Ono y’ajja okufuga abantu bange.’”+
18 Awo Sawulo n’atuukirira Samwiri ku mulyango n’amugamba nti: “Nkusaba ombuulire, ennyumba y’omulabi eri ludda wa?”
19 Samwiri n’addamu Sawulo nti: “Nze mulabi. Nkulemberaamu tugende ku kifo ekigulumivu, era mujja kulya nange olwa leero.+ Nja kukusiibula ku makya, era nja kukubuulira byonna by’oyagala okumanya.*
20 Endogoyi ezaababulako ennaku ssatu emabega+ temuzeeraliikirira kubanga zizuuliddwa. Ebintu byonna eby’omuwendo ebiri mu Isirayiri by’ani? Si bibyo ggwe n’ennyumba ya kitaawo yonna?”+
21 Awo Sawulo n’addamu nti: “Siri Mubenyamini ekika ekisingayo obutono mu bika bya Isirayiri,+ era oluggya lwaffe si lwe lusingayo obutono mu mpya zonna ez’omu kika kya Benyamini? Kale lwaki oŋŋamba ekintu bwe kityo?”
22 Awo Samwiri n’atwala Sawulo n’omuweereza we mu kisenge ekiriirwamu, n’abatuuza mu kifo ekisingayo okuba eky’oku mwanjo mu abo abaali bayitiddwa; waaliwo abasajja nga 30.
23 Samwiri n’agamba omufumbi nti: “Leeta ennyama gye nnakuwadde ne nkugamba nti, ‘Gitereke.’”
24 Awo omufumbi n’asitula ekisambi n’ebyo ebyakiriko, n’abiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n’agamba nti: “Ekyaterekeddwa kiteekeddwa mu maaso go. Lya, kubanga baakikuterekedde lwa mukolo guno. Kubanga nnabagambye nti, ‘Mpise abagenyi.’” Awo Sawulo n’aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo.
25 Oluvannyuma baava ku kifo ekigulumivu+ ne bagenda mu kibuga, Samwiri ne yeeyongera okwogera ne Sawulo nga bali waggulu ku nnyumba.
26 Baagolokoka ng’emmambya esaze, era Samwiri n’agamba Sawulo nga bali waggulu ku nnyumba nti: “Weeteeketeeke nkusiibule ogende.” Awo Sawulo ne yeeteekateeka, era bombi ye ne Samwiri ne bafuluma ebweru.
27 Bwe baali baserengeta okwolekera enjegoyego z’ekibuga, Samwiri n’agamba Sawulo nti: “Gamba omuweereza+ atukulemberemu,” awo omuweereza n’abakulemberamu, era Samwiri n’agattako nti: “Naye ggwe yimirira nkubuulire ekigambo kya Katonda.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Endogoyi enkazi.”
^ Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
^ Obut., “yabikkula okutu kwa.”
^ Obut., “byonna ebiri mu mutima gwo.”