1 Yokaana 1:1-10

  • Ekigambo ky’obulamu (1-4)

  • Okutambulira mu kitangaala (5-7)

  • Okwatula ebibi byaffe (8-10)

1  Tubawandiikira ebikwata ku oyo ayitibwa kigambo eky’obulamu,+ eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira ng’ayogera, gwe twalaba n’amaaso gaffe, gwe twekaliriza, era gwe twakwatako n’engalo zaffe,  (mazima ddala obulamu bwalabika, era twabulaba, tuwa obujulirwa,+ era tubabuulira obulamu obutaggwaawo+ obwava eri Kitaffe ne bulabisibwa gye tuli),  ekyo kye twalaba era kye twawulira kye tubabuulira, nammwe+ mulyoke musse kimu* naffe nga naffe bwe tussa ekimu ne Kitaffe n’Omwana we Yesu Kristo.+  N’olwekyo, tubawandiikira ebintu bino tusobole okuba n’essanyu mu bujjuvu.  Buno bwe bubaka bwe twawulira okuva gy’ali era bwe tubabuulira: Katonda kitangaala,+ era mu ye temuli kizikiza.  Bwe tugamba nti, “Tussa kimu naye,” kyokka ne tweyongera okutambulira mu kizikiza, tuba tulimba era nga tetukola bya mazima.+  Naye bwe tuba nga tutambulira mu kitangaala nga naye bw’ali mu kitangaala, ffenna tuba tussa kimu era omusaayi gw’Omwana we Yesu gutunaazaako ebibi byonna.+  Bwe tugamba nti, “Tetulina kibi,” tuba twerimba+ era amazima tegaba mu ffe.  Naye bwe twatula ebibi byaffe, Katonda mwesigwa era mutuukirivu, ajja kutusonyiwa ebibi byaffe era atunaazeeko obutali butuukirivu bwonna.+ 10  Bwe tugamba nti, “Tetukolangako kibi,” tuba tumufuula mulimba era ekigambo kye tekiba mu ffe.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mugabanire wamu.”