2 Abakkolinso 7:1-16
7 N’olwekyo abaagalwa, okuva bwe tulina ebisuubizo bino,+ ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo,+ obutukuvu bwaffe butuukirire mu kutya Katonda.
2 Mukkirize tube n’ekifo mu mitima gyammwe.+ Tetulina n’omu gwe tukoze kintu kibi, tewali n’omu gwe twonoonye, tewali n’omu gwe tukumpanyizza.+
3 Kino sikyogera kubanenya. Nnakyogera dda nti muli wamu naffe mu mitima gyaffe, ka kibe mu kufa oba mu bulamu.
4 Njogera n’obuvumu gye muli era mbenyumiririzaamu nnyo. Mbudaabudiddwa nnyo; nzijudde essanyu mu kubonaabona kwaffe kwonna.+
5 Mu butuufu, bwe twatuuka mu Masedoniya+ tetwafuna buweerero, naye tweyongera okubonaabona mu ngeri nnyingi—ebweru waaliyo entalo, munda mwalimu okutya.
6 Naye Katonda abudaabuda abo abaweddemu amaanyi,+ yatubudaabuda ng’ayitira mu kubeerawo kwa Tito;
7 naye teyayitira mu kubeerawo kwe kwokka, wabula ne mu kubudaabuda Tito kwe yafuna okuva gye muli, bwe yatutegeeza nga bwe mwagala ennyo okundaba, nga bwe mukungubaga, nga bwe munyiikira ennyo okunfaako; bwe ntyo ne nneeyongera okusanyuka ennyo.
8 Kale ne bwe mba nga nnabanakuwaza mu bbaluwa yange,+ sejjusa. Wadde nga mu kusooka nnejjusa, (nnalaba nti ebbaluwa eyo yabanakuwaza, naye okumala akaseera katono),
9 kaakano ndi musanyufu, si lwa kuba nti mwanakuwala kyokka, naye kubanga mwanakuwala ne mwenenya; kubanga mwanakuwala mu ngeri Katonda gy’ayagala, muleme kufiirwa kintu kyonna olw’okubeera ffe.
10 Kubanga okunakuwala mu ngeri Katonda gy’ayagala kuvaamu okwenenya okuleeta obulokozi era tekuleetera muntu kwejjusa;+ naye okunakuwala okw’ensi kuleeta okufa.
11 Kubanga laba! bino bye byava mu kunakuwala mu ngeri Katonda gy’ayagala: okufuba ennyo, okutereeza ensonga, okusunguwala, okutya Katonda, okwagala ennyo okwenenya, okunyiikira, okutereeza ekikyamu!+ Mu buli ngeri yonna mwalaga nti muli balongoofu mu nsonga eno.
12 Wadde nga nnabawandiikira, saawandiika ku lw’oyo eyakola ekikyamu+ oba olw’oyo eyakolwako ekikyamu, wabula nnabawandiikira okufuba kwammwe gye tuli kusobole okweyoleka mu mmwe mu maaso ga Katonda.
13 Eyo ye nsonga lwaki tubudaabudiddwa.
Kyokka ng’oggyeeko okubudaabudibwa, tweyongera okusanyuka ennyo olw’essanyu Tito lye yafuna, kubanga mmwe mwazzaamu omwoyo gwe amaanyi.
14 Bwe mba nga nnina kye nnabeenyumiririzaamu gy’ali, siswaziddwa; naye ng’ebintu byonna bye twababuulira bwe byali eby’amazima, n’okwenyumiriza kwaffe eri Tito kubadde kwa mazima.
15 Ate era, okwagala kw’alina gye muli kungi nnyo, ng’ajjukira obuwulize bwammwe mmwenna,+ engeri gye mwamwanirizaamu n’okutya n’okukankana.
16 Ndi musanyufu nti nsobola okubassaamu obwesige mu buli kimu.