Abebbulaniya 4:1-16

  • Okulemererwa okuyingira mu kiwummulo kya Katonda (1-10)

  • Okukubirizibwa okuyingira mu kiwummulo kya Katonda (11-13)

    • Ekigambo kya Katonda kiramu (12)

  • Yesu, kabona asinga obukulu (14-16)

4  Kale, okuva ekisuubizo ky’okuyingira mu kiwummulo bwe kikyaliwo, twegendereze waleme kubaawo n’omu ku ffe alemererwa okutuukiriza ebisaanyizo eby’okukiyingira.+  Kubanga naffe tubuuliddwa amawulire amalungi+ era nga nabo bwe baabuulirwa; naye ekigambo kye baawulira tekyabaganyula olw’okuba tebaalina kukkiriza ng’okw’abo abaawulira.  Era ffe abakkirizza tuyingira mu kiwummulo kye yayogerako nti: “Nnasunguwala ne ndayira nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange,’”+ wadde ng’emirimu gye gyamalirizibwa okuva ku ntandikwa y’ensi.*+  Kubanga mu kyawandiikibwa ekimu ayogera bw’ati ku lunaku olw’omusanvu: “Katonda n’awummula emirimu gye gyonna ku lunaku olw’omusanvu,”+  ate era agamba nti: “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”+  N’olwekyo, okuva abamu bwe bakyalina okukiyingiramu, ate nga n’abo abaasooka okubuulirwa amawulire amalungi tebaakiyingiramu olw’obujeemu,+  ateekawo nate olunaku olumu ng’ayogera mu zabbuli ya Dawudi oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti, “Leero”; ng’era bwe kyayogeddwako waggulu nti: “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, temukakanyaza mitima gyammwe.”+  Kubanga singa Yoswa+ yali abatuusizza mu kiwummulo, oluvannyuma Katonda teyandyogedde ku lunaku lulala.  N’olwekyo, wakyasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda.+ 10  Kubanga omuntu ayingidde mu kiwummulo kya Katonda naye kennyini aba awummudde emirimu gye, nga ne Katonda bwe yawummula egigye.+ 11  N’olwekyo, ka tufube nnyo okuyingira mu kiwummulo ekyo, waleme kubaawo n’omu agwa n’agoberera ekyokulabirako ekyo eky’obujeemu.+ 12  Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi,+ era kyogi okusinga ekitala ekisala eruuyi n’eruuyi,+ era kiyingirira ddala n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kisobola okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima. 13  Ate era, tewali kitonde kyonna ekitalabika mu maaso ge,+ naye ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa oyo gwe tugenda okunnyonnyola bye twakola.+ 14  N’olwekyo, nga bwe tulina kabona asinga obukulu eyagenda mu ggulu, Yesu Omwana wa Katonda,+ ka tweyongere okumulangirira.+ 15  Kubanga kabona asinga obukulu gwe tulina si y’oyo atayinza kutulumirirwa mu bunafu bwaffe,+ wabula y’oyo agezeseddwa mu byonna nga ffe, naye nga ye talina kibi.+ 16  N’olwekyo, ka tusemberere entebe ey’ekisa eky’ensusso era tusabe Katonda nga tetuliimu kutya kwonna,+ tulyoke tusaasirwe era tulagibwe ekisa eky’ensusso mu kiseera we twetaagira obuyambi.

Obugambo Obuli Wansi

Laba obugambo obuli wansi ku Mat 25:34.