Abebbulaniya 7:1-28
7 Kubanga Merukizeddeeki ono, kabaka wa Saalemi, kabona wa Katonda Asingayo Okuba Waggulu, yasisinkana Ibulayimu ng’ava okutta bakabaka n’amuwa omukisa,+
2 era Ibulayimu n’amuwa kimu kya kkumi ku buli kintu kye yanyaga. Ayitibwa “Kabaka ow’Obutuukirivu” (ng’erinnya lye bwe livvuunulwa), ate era kabaka wa Saalemi, kwe kugamba, “Kabaka ow’Emirembe.”
3 Olw’obutaba na kitaawe, nnyina, olunyiriri lw’obuzaale, entandikwa y’ennaku ze oba enkomerero y’obulamu bwe, naye n’afuulibwa ng’Omwana wa Katonda, asigala nga kabona emirembe n’emirembe.+
4 Kale mulabe omusajja ono bwe yali omukulu, Ibulayimu jjajjaffe gwe yawa ekimu eky’ekkumi ku munyago ogwali gusinga obulungi.+
5 Okusinziira ku Mateeka, abaana ba Leevi+ abafuna obwakabona baalagirwa okusolooza ekimu eky’ekkumi okuva mu bantu,+ kwe kugamba, okuva mu baganda baabwe, wadde nga nabo bazzukulu ba Ibulayimu.
6 Naye omusajja ataava mu lunyiriri lwa Leevi yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu era n’awa omukisa oyo eyalina ebisuubizo.+
7 Awatali kubuusabuusa, oyo awa omukisa asinga oyo aweebwa omukisa.
8 Ku luuyi olumu, ekimu eky’ekkumi kifunibwa abantu abafa, naye ku luuyi olulala, kyafunibwa oyo Ebyawandiikibwa gwe bikakasa nti mulamu.+
9 Era kiyinza okugambibwa nti ne Leevi afuna ekimu eky’ekkumi naye yawaayo ekimu eky’ekkumi okuyitira mu Ibulayimu,
10 kubanga yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki we yasisinkanira jjajjaawe.+
11 Kale bwe kiba nti obutuukirivu bwali bufunibwa okuyitira mu bwakabona bw’Abaleevi,+ (kubanga Amateeka agaaweebwa abantu gazingiramu n’obwakabona,) lwaki kyandibadde kyetaagisa kabona omulala okujja, agambibwa okuba nga Merukizeddeeki+ so si nga Alooni?
12 Okuva obwakabona bwe bukyusibwa, n’Amateeka gaba galina okukyusibwa.+
13 Kubanga omuntu ayogerwako ebintu bino ava mu kika kirala, ekitavangamu muntu yenna eyali aweerezza ku kyoto.+
14 Kimanyiddwa bulungi nti Mukama waffe yava mu kika kya Yuda,+ Musa ky’ataayogerako nti kirivaamu bakabona.
15 Era kino kyeyongera okutegeerekeka obulungi bwe wajjawo kabona omulala+ alinga Merukizeddeeki,+
16 ataalondebwa kuyitira mu lunyiriri lw’obuzaale ng’amateeka bwe galagira, wabula okuyitira mu maanyi agamusobozesa okuba n’obulamu obutayinza kuzikirizibwa.+
17 Kubanga waliwo ekyawandiikibwa ekigamba nti: “Oli kabona emirembe gyonna nga Merukizeddeeki.”+
18 Mazima ddala, ekiragiro ekyasooka kyadibizibwa olw’okuba kyali kinafu era nga tekigasa.+
19 Amateeka tegalina kintu kyonna kye gaafuula ekituukiridde,+ naye okuleetebwa kw’essuubi erisingako obulungi+ kwafuula ebintu okuba ebituukiridde, era okuyitira mu ssuubi eryo tusemberera Katonda.+
20 Ate era, nga kino bwe kyakolebwa nga tewaliiwo kirayiro kirayiddwa,
21 (mazima ddala waliwo abantu abaafuuka bakabona awatali kirayiro, naye ono ye yafuuka kabona okuyitira mu kirayiro ky’Oyo eyamwogerako nti: “Yakuwa* alayidde era talikyusa kirowoozo,* ‘Oli kabona emirembe gyonna’”),+
22 ne Yesu afuuse akakalu* k’endagaano esingako obulungi.+
23 Ate era bangi baafuuka bakabona ng’omu asikira omulala+ kubanga okufa kwabalemesanga okweyongera okuweereza nga bakabona,
24 naye olw’okuba ye abeera mulamu emirembe gyonna,+ obwakabona bwe tebuliiko babusikira.
25 Bwe kityo, asobola okulokolera ddala abo abatuukirira Katonda okuyitira mu ye, kubanga bulijjo aba mulamu okwegayirira ku lwabwe.+
26 Kubanga kabona asinga obukulu ng’oyo, omwesigwa, ataliiko kya kunenyezebwa, omulongoofu,+ atali ng’aboonoonyi, era agulumiziddwa okusinga eggulu,+ y’atusaanira.
27 Obutafaananako bakabona abasinga obukulu, ye tekimwetaagisa kuwaayo ssaddaaka buli lunaku,+ okusooka olw’ebibi bye n’oluvannyuma eby’abantu,+ kubanga kino yakikola omulundi gumu bwe yeewaayo.+
28 Kubanga Amateeka galonda bakabona abasinga obukulu abalina obunafu,+ naye ekigambo eky’ekirayiro+ ekyalayirwa oluvannyuma lw’Amateeka, kironda omwana eyatuukirira+ emirembe gyonna.