Abeefeso 2:1-22
2 Ate era, Katonda yabafuula balamu wadde nga mwali bafu olw’ebyonoono byammwe n’ebibi byammwe,+
2 bye mwatambulirangamu edda nga mutuukana n’enteekateeka y’ebintu* ey’ensi eno,+ era nga mutuukana n’ebyo omufuzi w’obuyinza obw’empewo+ by’ayagala, omwoyo+ ogukolera kaakano mu baana ab’obujeemu.
3 Mazima ddala, ffenna edda bwe twali mu bo twagobereranga okwegomba kw’emibiri gyaffe,+ nga tukola ebyo omubiri n’ebirowoozo byaffe bye byagala,+ era mu buzaaliranwa twali baana Katonda b’ayolekeza obusungu bwe+ ng’abalala bwe bali.
4 Naye Katonda ow’okusaasira okungi,+ olw’okwagala kwe okungi kwe yatulaga,+
5 yatufuula balamu awamu ne Kristo, wadde nga twali bafu olw’ebyonoono byaffe+—mulokoleddwa olw’ekisa kye eky’ensusso.
6 Ate era yatuzuukiriza wamu era n’atutuuza wamu mu bifo eby’omu ggulu nga tuli bumu ne Kristo Yesu,+
7 kibe nti mu nteekateeka y’ebintu* egenda okujja, alaga obugagga obungi ennyo obw’ekisa kye eky’ensusso, okuyitira mu bulungi bwe yatulaga ffe abali obumu ne Kristo Yesu.
8 Olw’ekisa kino eky’ensusso mwafuna obulokozi okuyitira mu kukkiriza;+ era temwabufuna ku bwammwe, wabula kirabo okuva eri Katonda.
9 Tebwafunibwa lwa bikolwa,+ waleme kubaawo n’omu abaako ky’asinziirako okwewaana.
10 Tuli mulimu gwa ngalo za Katonda era twatondebwa+ nga tuli bumu ne Kristo Yesu+ tusobole okukola emirimu emirungi Katonda gye yatuteekerateekera edda okukola.
11 N’olwekyo, mmwe abaazaalibwa nga muli ba mawanga,* mukijjukire nti abo “abaakomolebwa” n’emikono gy’abantu mu mubiri, mmwe be baayitanga “abatali bakomole.”
12 Mu kiseera ekyo mwali temulina Kristo, nga mweyawudde ku ggwanga lya Isirayiri era nga temumanyiddwa mu ndagaano ez’ekisuubizo;+ mwali temulina ssuubi era nga temulina Katonda mu nsi.+
13 Naye kaakano nga muli bumu ne Kristo Yesu, mmwe abaali ewala musembedde olw’omusaayi gwa Kristo.
14 Kubanga ye gye mirembe gyaffe,+ oyo eyagatta awamu ebibinja ebibiri+ ne biba kimu era n’amenyawo ekisenge ekyali kibyawula.+
15 Okuyitira mu mubiri gwe, yaggyawo ekyo ekyali kireetawo obukyayi, nga ge Mateeka agalimu ebiragiro, asobole okufuula ebibinja ebibiri ebiri obumu naye okuba omuntu omu omuggya+ era aleetewo emirembe,
16 ate era asobole okutabaganya mu bujjuvu abantu bombi ne Katonda mu mubiri gumu okuyitira mu muti ogw’okubonaabona,*+ kubanga okuyitira mu mubiri gwe, yali aggyeewo ekyo ekireeta obukyayi.+
17 Era yajja n’alangirira amawulire amalungi ag’emirembe eri mmwe abaali ewala n’eri ab’okumpi,
18 kubanga okuyitira mu ye, ffe ab’ebibinja byombi tusobola okutuukirira Kitaffe mu mwoyo gumu.
19 N’olwekyo, temukyali bantu abatamanyiddwa era abagwira,+ naye muli batuuze bannaffe+ ab’omu batukuvu era muli ba mu nnyumba ya Katonda,+
20 era muzimbiddwa ku musingi gw’abatume ne bannabbi,+ nga Kristo Yesu kennyini lye jjinja ery’omusingi ery’oku nsonda.+
21 Mu ye ekizimbe kyonna nga kigattiddwa wamu+ kigenda kikula kifuuke yeekaalu ya Yakuwa* entukuvu.+
22 Nga muli bumu naye, nammwe mugenda muzimbibwa wamu mufuuke ekifo Katonda ky’abeeramu mu mwoyo.+