Amosi 4:1-13
4 “Muwulire ekigambo kino mmwe ente z’e Basani,Eziri ku lusozi lw’e Samaliya,+Mmwe abakazi abakumpanya abanaku+ era abanyigiriza abaavu,Abagamba babbammwe* nti ‘Mutuleetere eky’okunywa!’
2 Yakuwa Mukama Afuga Byonna alayidde mu butukuvu bwe nti,‘“Laba! Ennaku zijja lw’alibaggyawo ng’akozesa amalobo kwe bawanika ennyamaEra abalisigalawo ku mmwe alibaggyawo n’amalobo agavuba.
3 Buli omu ku mmwe aliyita mu kituli ekirimubeera mu maaso,Era mulisuulibwa mu Kalumooni,” Yakuwa bw’agamba.’
4 ‘Mujje e Beseri mwonoone,*+Mujje e Girugaali mwongere okwonoona!+
Muleete ssaddaaka zammwe+ ku makya,N’ekimu eky’ekkumi+ ku lunaku olw’okusatu.
5 Mwokye ssaddaaka ey’okwebaza ey’omugaati oguzimbulukusiddwa;+Mulangirire ebiweebwayo byammwe ebya kyeyagalire!
Kubanga ekyo kye mwagala okukola mmwe abantu ba Isirayiri,’ Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba.
6 ‘Nnabaleetera enjala* mu bibuga byammwe byonnaN’ebbula ly’emmere mu nnyumba zammwe zonna;+Naye temwakomawo gye ndi,’+ Yakuwa bw’agamba.
7 ‘Nnaziyiza n’enkuba okutonnya ng’ebula emyezi esatu amakungula gatuuke;+Nnatonnyesa enkuba mu kibuga ekimu ate mu kibuga ekirala ne sigitonnyesaayo.
Enkuba yatonnya mu kibanja ekimu,Naye ekibanja ekirala mw’etaatonnya kyakala.
8 Abantu b’omu bibuga bibiri oba bisatu baatambulanga nga batagala ne bagenda mu kibuga kimu okunywa amazzi,+Kyokka ne batafuna mazzi gamala okubamalako ennyonta;Naye temwakomawo gye ndi,’+ Yakuwa bw’agamba.
9 ‘Nnaleetera ebirime byammwe okubabuka n’okugengewala.+
Mwayaza ennimiro ez’emmere n’ez’emizabbibu,Kyokka enzige zaalyanga emitiini gyammwe n’emizeyituuni gyammwe;+Naye era temwakomawo gye ndi,’ Yakuwa bw’agamba.+
10 ‘Nnabasindikira obulwadde obw’amaanyi obulinga obw’e Misiri.+
Nnatta abavubuka bammwe+ n’ekitala era ne mpamba embalaasi zammwe.+
Empewo yajjula ekivundu ky’emirambo+ egyali mu nsiisira zammwe;Naye temwakomawo gye ndi,’ Yakuwa bw’agamba.
11 ‘Nnazikiriza ensi yammweNga bwe nnazikiriza Sodomu ne Ggomola.+
Mwali ng’ekisiki kye basise mu muliro;Naye temwakomawo gye ndi,’+ Yakuwa bw’agamba.
12 Kale ekyo kye nja okukukola ggwe Isirayiri.
Era olw’okuba ekyo kye nja okukukola,Weeteeketeeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.
13 Kubanga laba! ye yakola ensozi+ era n’atonda n’embuyaga;+By’alowooza abibuulira omuntu,Obudde obw’oku makya abufuula ekizikiza,+Era alinnyirira ebifo by’ensi ebigulumivu,+Yakuwa Katonda ow’eggye lye linnya lye.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “bakama bammwe.”
^ Oba, “mujeeme.”
^ Oba, “Saabawa mmere ya kulya.” Obut., “Nnabawa obuyonjo bw’amannyo.”