Amosi 6:1-14
6 “Zibasanze abo abeekakasa ennyo* abali mu Sayuuni,Abo abatalina kye beeraliikirira ku lusozi lw’e Samaliya!+
Abatutumufu mu ggwanga ekkulu mu mawanga gonna,Abo ennyumba ya Isirayiri gy’egenda.
2 Mugende e Kalune mulabe.
Muve eyo mugende mu Kamasi Ekikulu,+Muserengete e Gaasi eky’Abafirisuuti.
Bisinga obwakabaka buno bwombi* obulungi,Oba bisinga ensi yammwe obugazi?
3 Muggya mu birowoozo byammwe olunaku olw’obuyinike,+Ne musembeza entebe y’ebikolwa eby’obukambwe?+
4 Bagalamira ku bitanda eby’amasanga+ era beegololera mu ntebe ennungi,+Nga balya endiga ennume ez’omu bisibo, n’ente ento ensava;*+
5 Bayiiya ennyimba ezigendera ku ntongooli,*+Era okufaananako Dawudi, bayiiya ebivuga;+
6 Banywera omwenge mu bbakuli+Era beesiiga amafuta agasingayo obulungi.
Naye tebafaayo* wadde nga balaba embeera embi Yusufu gy’alimu.+
7 Kale be balisooka mu abo abaligenda mu buwaŋŋanguse,+Era ebinyumu by’abo abeegololera ku bitanda birikoma.
8 ‘Yakuwa Mukama Afuga Byonna alayidde mu linnya lye,’+ Yakuwa Katonda w’eggye bw’agamba,‘“Nneetamiddwa amalala ga Yakobo,+Saagalira ddala minaala gye,+Era ndiwaayo ekibuga n’ebikirimu eri abalabe baakyo.+
9 “‘“Era abantu kkumi bwe baliba nga be basigadde mu nnyumba emu, nabo balifa.
10 Ow’oluganda w’omu ku bo* alijja n’abafulumya n’abookya omu ku omu. Aliggya amagumba gaabwe mu nnyumba; oluvannyuma aligamba oyo aliba mu bisenge eby’omunda mu nnyumba nti, ‘Wakyaliyo ali naawe?’ Era alimuddamu nti, ‘Teri n’omu.’ Awo aligamba nti, ‘Sirika! Kubanga kino si kiseera kya kwogera ku linnya lya Yakuwa.’”
11 Kubanga Yakuwa y’alagidde,+Era ajja kukuba ennyumba ennene efuuke bifunfugu,Era ajja kukuba n’ennyumba entono efuuke bifunfugu.+
12 Embalaasi zisobola okuddukira ku kagulungujjo k’olusozi,Oba omuntu asobola okulimisizaako ente?
Obwenkanya mubufudde ekimera eky’obutwa,N’ekibala eky’obutuukirivu mukifudde ekintu ekikaawa ennyo.+
13 Musanyukira ekintu ekitalina mugaso,Era mugamba nti, “Tetufuuse ba maanyi* mu maanyi gaffe?”+
14 N’olwekyo, ndibaleetera eggwanga mmwe ennyumba ya Isirayiri,’+ Yakuwa Katonda ow’eggye bw’agamba,‘Era balibabonyaabonya okuviira ddala e Lebo-kamasi*+ okutuukira ddala ku Kiwonvu* eky’omu Alaba.’”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “abateefiirayo.”
^ Kirabika wano boogera ku bwakabaka bwa Yuda n’obwa Isirayiri.
^ Oba, “ente ento ennume.”
^ Oba, “ku bivuga eby’enkoba.”
^ Obut., “tebaalwala.”
^ Obut., “Muganda wa kitaawe.”
^ Obut., “Tetwefunidde mayembe.”
^ Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”