Danyeri 3:1-30

  • Ekifaananyi kya Kabaka Nebukadduneeza ekya zzaabu (1-7)

    • Alagira abantu okusinza ekifaananyi (4-6)

  • Abebbulaniya abasatu bagaana okusinza ekifaananyi (8-18)

    • “Tetujja kuweereza bakatonda bo” (18)

  • Basuulibwa mu kyokero (19-23)

  • Banunulibwa mu ngeri ey’ekyamagero (24-27)

  • Kabaka atendereza Katonda w’Abebbulaniya (28-30)

3  Kabaka Nebukadduneeza yakola ekifaananyi* ekya zzaabu, ng’obuwanvu kya mikono 60* ng’ate obugazi kya mikono 6.* Yakiteeka mu lusenyi lw’e Dduula, mu ssaza lya Babulooni.  Awo Kabaka Nebukadduneeza n’alagira bakuŋŋaanye ab’amasaza, ab’amagombolola, bagavana, abawi b’amagezi, abawanika, abalamuzi, abakwasisa amateeka, n’abaami bonna ab’omu masaza, bajje babeewo ng’ekifaananyi Kabaka Nebukadduneeza kye yali akoze kitongozebwa.  Awo ab’amasaza, ab’amagombolola, bagavana, abawi b’amagezi, abawanika, abalamuzi, abakwasisa amateeka, n’abaami bonna ab’omu masaza, ne bakuŋŋaana wamu olw’okutongoza ekifaananyi Kabaka Nebukadduneeza kye yali akoze. Ne bayimirira mu maaso g’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yali akoze.  Omulangirizi n’alangirira mu ddoboozi erya waggulu nti: “Abantu ab’amawanga ag’enjawulo n’ennimi ez’enjawulo, mulagirwa  nti bwe munaawulira eddoboozi ly’eŋŋombe, ery’endere, ery’entongooli entono, ery’ebivuga eby’enkoba eby’ebika eby’enjawulo, ery’endere ennene, n’ery’ebivuga ebirala byonna, nga muvunnama nga musinza ekifaananyi ekya zzaabu Kabaka Nebukadduneeza ky’akoze.  Buli ataavunname n’akisinza, mangu ddala ajja kusuulibwa mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja.”+  Abantu bonna bwe baawulira eddoboozi ly’eŋŋombe, ery’endere, ery’entongooli entono, ery’ebivuga eby’enkoba eby’ebika eby’enjawulo, n’ery’ebivuga ebirala byonna, abantu bonna ab’amawanga ag’enjawulo n’ennimi ez’enjawulo ne bavunnama ne basinza ekifaananyi ekya zzaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yali akoze.  Mu kiseera ekyo waaliwo Abakaludaaya abaavaayo ne baloopa* Abayudaaya.  Baagamba Kabaka Nebukadduneeza nti: “Ai kabaka, wangaala emirembe n’emirembe. 10  Ai kabaka, ggwe wawa ekiragiro nti buli muntu anaawulira eddoboozi ly’eŋŋombe, ery’endere, ery’entongooli entono, ery’ebivuga eby’enkoba eby’ebika eby’enjawulo, ery’endere ennene, n’ery’ebivuga ebirala byonna, avunname asinze ekifaananyi ekya zzaabu; 11  era nti buli ataavunname n’akisinza ajja kusuulibwa mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja.+ 12  Kyokka waliwo Abayudaaya be walonda okuddukanya essaza lya Babulooni: Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego.+ Ai kabaka, abasajja abo tebakussizzaamu kitiibwa. Tebaweereza bakatonda bo era bagaanye okusinza ekifaananyi ekya zzaabu kye wakola.” 13  Awo Nebukadduneeza n’asunguwala nnyo, n’alagira baleete Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. Ne babaleeta mu maaso ga kabaka. 14  Nebukadduneeza n’ababuuza nti: “Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, ddala kituufu nti temuweereza bakatonda bange,+ era nti mugaanye n’okusinza ekifaananyi ekya zzaabu kye nnakola? 15  Kale nno, bwe munaawulira eddoboozi ly’eŋŋombe, ery’endere, ery’entongooli entono, ery’ebivuga eby’enkoba eby’ebika eby’enjawulo, ery’endere ennene, n’ery’ebivuga ebirala byonna, ne muba nga muli beetegefu okuvunnama ne musinza ekifaananyi ekya zzaabu kye nnakola, ekyo kijja kuba kirungi. Naye bwe munaagaana okukisinza, mangu ddala mujja kusuulibwa mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja. Kale katonda ki oyo asobola okubanunula mu mukono gwange?”+ 16  Awo Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, ne baddamu kabaka nti: “Ai Nebukadduneeza, tekitwetaagisa kubaako kye tukuddamu ku nsonga eno. 17  Bwe tunaaba ba kusuulibwa mu muliro, Katonda waffe gwe tuweereza asobola okutuwonya mu kyokero omuli omuliro ogubumbujja, n’okutununula mu mukono gwo, Ai kabaka.+ 18  Naye ne bw’anaaba tatununudde, kimanye, Ai kabaka, nti tetujja kuweereza bakatonda bo wadde okusinza ekifaananyi ekya zzaabu kye wakola.”+ 19  Awo Nebukadduneeza n’asunguwalira nnyo Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, era n’engeri gye yali abatunuulira n’ekyuka;* n’alagira bakume omuliro mu kyokero gwake okusinga ogwa bulijjo emirundi musanvu. 20  Awo n’alagira abamu ku basajja ab’amaanyi ab’omu magye ge basibe Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, babasuule mu kyokero omwali omuliro ogubumbujja. 21  Abasajja abo ne basibibwa nga bali mu byambalo byabwe eby’okungulu n’eby’omunda, awamu n’enkoofiira zaabwe, n’engoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kyokero omwali omuliro ogubumbujja. 22  Olw’okuba ekiragiro kabaka kye yali awadde kyali kikakali nnyo, ate nga n’ekyokero kyalimu omuliro mungi, abasajja abaasitula Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ne babasuulayo, be baayokebwa ennimi z’omuliro ne bafa. 23  Kyokka bo abasajja abo abasatu, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, baagwa mu kyokero omwali omuliro ogubumbujja nga basibiddwa. 24  Awo Kabaka Nebukadduneeza n’atya nnyo, n’asituka mangu n’abuuza abaami be nti: “Tetwasibye abasajja basatu ne tubasuula mu muliro?” Ne baddamu kabaka nti: “Bwe kiri, Ai Kabaka.” 25  N’agamba nti: “Laba! Ndaba abasajja bana nga batambulira wakati mu muliro nga si basibe, era nga tewali kabi konna kabatuuseeko; era ow’okuna afaanana ng’omwana wa bakatonda.” 26  Nebukadduneeza n’asembera kumpi n’omulyango gw’ekyokero omwali omuliro ogubumbujja n’agamba nti: “Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mmwe abaweereza ba Katonda Asingayo Okuba Waggulu,+ mufulume mujje eno!” Awo Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ne bava mu muliro. 27  Ab’amasaza, ab’amagombolola, bagavana, n’abaami ba kabaka abaali bakuŋŋaanidde awo,+ ne balaba nti omuliro gwali tegwokyezza basajja abo,+ era nga tewali wadde oluviiri lw’oku mitwe gyabwe olumu bwe luti olwali lusiridde. Ebyambalo byabwe byali tebikyuseeko n’akamu era nga tebawunya na mukka. 28  Awo Nebukadduneeza n’agamba nti: “Atenderezebwe Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego+ eyatumye malayika we n’awonya abaweereza be. Baamwesize ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, era baabadde beetegefu okufa,* mu kifo ky’okuweereza oba okusinza katonda omulala yenna okuggyako Katonda waabwe.+ 29  N’olwekyo, mpisa ekiragiro nti abantu ab’amawanga ag’enjawulo n’ennimi ez’enjawulo abanaayogera ekintu kyonna ekibi ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, batemebwetemebwe era ennyumba zaabwe zifuulibwe kaabuyonjo eza lukale;* kubanga teriiyo katonda mulala yenna asobola kuwonya ng’oyo.”+ 30  Awo kabaka n’akuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego mu ssaza lya Babulooni.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ekibumbe.”
Mita nga 27 (ffuuti 88). Laba Ebyong. B14.
Mita nga 2.7 (ffuuti 8.8). Laba Ebyong. B14.
Oba, “bawaayiriza.”
Oba, “endowooza gye yalina gye bali n’ekyukira ddala.”
Oba, “okuwaayo emibiri gyabwe.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “kasasiro; ntuumu ya busa.”