Ebikolwa 28:1-31
28 Bwe twatuuka mirembe ku lukalu, ne tutegeera nti ekizinga ekyo kyali kiyitibwa Maluta.+
2 Abantu b’oku kizinga ekyo* baatulaga ekisa ekitalojjeka. Ffenna baatusembeza, ne batukumira omuliro, kubanga enkuba yali etonnya era nga n’obudde bunnyogovu.
3 Naye Pawulo bwe yakuŋŋaanya ekiganda ky’obuku n’abuteeka ku muliro, omusota ogw’obusagwa ne guvaamu olw’ebbugumu ne gwerippa ku mukono gwe.
4 Abantu b’oku kizinga bwe baalaba omusota ogw’obusagwa nga guleebeetera ku mukono gwe, ne batandika okugambagana nti: “Mazima ddala omusajja ono mutemu, era wadde awonyeewo mu nnyanja, Obwenkanya* tebumukkirizza kweyongera kuba mulamu.”
5 Kyokka yeekunkumulako omusota ogw’obusagwa ne gugwa mu muliro n’atatuukibwako kabi konna.
6 Baali basuubira nti agenda kuzimba oba okutondoka afe. Bwe baalindirira okumala akaseera ne balaba nga tewali kabi kamutuuseeko, ne bakyusa endowooza yaabwe ne batandika okugamba nti yali katonda.
7 Okumpi n’ekifo ekyo waaliwo ennimiro z’omusajja omukulu w’ekizinga ekyo ayitibwa Pubuliyo, eyatwaniriza n’atulabirira bulungi okumala ennaku ssatu.
8 Naye taata wa Pubuliyo yali yeebase nga mulwadde omusujja n’ekiddukano ky’omusaayi, Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira n’amussaako emikono n’amuwonya.+
9 Ekyo bwe kyabaawo, abantu abalala ku kizinga abaali abalwadde nabo ne batandika okujja gy’ali bawonyezebwe.+
10 Baatuwa ebirabo bingi, era bwe twali tuteekateeka okusaabala, ne batuwa ebintu byonna bye twali twetaaga.
11 Bwe waayitawo emyezi esatu, ne tusaabala mu kyombo eky’e Alekizandiriya, ekyali kimaze ekiseera eky’obutiti nga kiri ku kizinga ekyo, era kyaliko akabonero akagamba nti, “Abaana ba Zewu.”
12 Awo ne tugoba ku mwalo gw’e Sulakusa ne tumalayo ennaku ssatu;
13 bwe twava eyo ne tugenda ne tutuuka e Legiyo. Ku lunaku olwaddako embuyaga eyali eva mu bukiikaddyo n’ekunta, ne tutuuka e Putiyooli ku lunaku olw’okubiri.
14 Eyo twasangayo ab’oluganda ne batwegayirira tusigale nabo okumala ennaku musanvu, oluvannyuma ne twolekera Rooma.
15 Ab’oluganda abaali mu Rooma bwe baawulira amawulire agatukwatako, ne bajja okutusisinkana mu Katale k’e Apiyo ne mu kifo ekiyitibwa Ebisulo Ebisatu, era Pawulo olwabalaba ne yeebaza Katonda n’aguma.+
16 Bwe twatuuka mu Rooma, Pawulo n’akkirizibwa okubeera yekka n’omusirikale eyali amukuuma.
17 Bwe waayitawo ennaku ssatu, n’ayita abakulu b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana, n’abagamba nti: “Ab’oluganda, wadde nga sirina kibi kye nnakola bantu wadde okuwakanya empisa za bajjajjaffe,+ nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy’Abaruumi mu Yerusaalemi.+
18 Era abo bwe baamala okumpozesa+ ne baagala okunsumulula, kubanga tewaaliwo nsonga eyali eŋŋwanyiza okuttibwa.+
19 Naye Abayudaaya bwe baakiwakanya, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali,+ naye si lwa kuba nti nnalina ekintu kyonna kye nvunaana eggwanga lyange.
20 N’olw’ensonga eyo, mbayise njogere gye muli, kubanga nsibiddwa enjegere zino olw’essuubi lya Isirayiri.”+
21 Ne bamugamba nti: “Naffe tetufunanga mabaluwa kuva mu Buyudaaya agakwogerako, era tewali n’omu ku baganda baffe abajja eno eyali akwogeddeko ekintu ekibi.
22 Naye twandyagadde okuwulira endowooza yo, kubanga tukimanyi nti akabiina k’eddiini kano+ koogerwako bubi buli wantu.”+
23 Awo ne bateekateeka olunaku olw’okusisinkana naye, era ne bajja bangi mu kifo we yali asula. Yabannyonnyola ensonga ng’abawa obujulirwa obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu bujjuvu, era n’agezaako okubasendasenda okukkiriza Yesu+ ng’akozesa Amateeka ga Musa+ n’ebyo ebyawandiikibwa bannabbi,+ okuva ku makya okutuukira ddala akawungeezi.
24 Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batabikkiriza.
25 Olw’okuba baali tebakkiriziganya, ne batandika okuvaawo, Pawulo n’agamba nti:
“Omwoyo omutukuvu kye gwayogera ku bajjajjammwe okuyitira mu nnabbi Isaaya kituukirawo,
26 bwe yagamba nti, ‘Genda eri abantu bano obagambe nti: “Okuwulira muliwulira naye temulitegeera, n’okutunula mulitunula naye temuliraba.+
27 Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye, era bawulidde n’amatu gaabwe, naye tewali kye bakozeewo, era bazibirizza amaaso gaabwe, baleme okulaba n’amaaso gaabwe, n’okuwulira n’amatu gaabwe bategeere n’emitima gyabwe bakyuke mbawonye.”’+
28 N’olwekyo, mukimanye nti amawulire gano agakwata ku ngeri Katonda gy’alokolamu gatwaliddwa eri ab’amawanga,+ era bajja kugawuliriza.”+
29 * ——
30 Pawulo yamala emyaka ebiri mu nnyumba gye yali apangisizza,+ n’ayanirizanga n’essanyu abo abajjanga gy’ali,
31 n’ababuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, era n’abayigiriza ebintu ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo, ng’ayogera n’obuvumu,+ awatali kuziyizibwa.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Abantu abaali batayogera Luyonaani.”
^ Mu Luyonaani, Diʹke, nga kiyinza okuba kitegeeza katonda ow’obwenkanya abonereza.
^ Laba Ebyong. A3.