Ekyabalamuzi 10:1-18

  • Omulamuzi Tola n’Omulamuzi Yayiri (1-5)

  • Abayisirayiri bajeema era beenenya (6-16)

  • Abaamoni batiisatiisa Isirayiri (17, 18)

10  Abimereki bwe yamala okufa, Tola mutabani wa Puwa, mutabani wa Dodo, omusajja wa Isakaali, ye yajja okulokola Isirayiri.+ Yali abeera mu Samiri ekiri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi.  Yalamula Isirayiri okumala emyaka 23, oluvannyuma n’afa n’aziikibwa mu Samiri.  Oluvannyuma lwa Tola waddawo Yayiri Omugireyaadi, era yalamula Isirayiri okumala emyaka 22.  Yalina abaana ab’obulenzi 30 abaatambuliranga ku ndogoyi 30, era baalina ebibuga 30. Ebibuga ebyo bakyabiyita Kavosu-yayiri n’okutuusa leero;+ biri mu kitundu ky’e Gireyaadi.  Oluvannyuma Yayiri yafa n’aziikibwa mu Kamoni.  Abayisirayiri ne baddamu okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa,+ era ne batandika okuweereza Babbaali,+ n’ebifaananyi bya Asutoleesi, ne bakatonda b’e Alamu,* ne bakatonda b’e Sidoni, ne bakatonda ba Mowaabu,+ ne bakatonda b’Abaamoni,+ ne bakatonda b’Abafirisuuti.+ Bwe batyo ne bava ku Yakuwa ne batamuweereza.  Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatunda mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’Abaamoni.+  Ne babonyaabonya era ne banyigiriza nnyo Abayisirayiri mu mwaka ogwo—okumala emyaka 18 baanyigiriza Abayisirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani mu kitundu ekyali eky’Abaamoli mu Gireyaadi.  Abaamoni baasomokanga ne Yoludaani okulwanyisa Yuda ne Benyamini n’ennyumba ya Efulayimu; Isirayiri n’ebeera mu nnaku ey’amaanyi ennyo. 10  Abayisirayiri ne bakoowoola Yakuwa abayambe+ nga bagamba nti: “Twonoonye mu maaso go, kubanga tukuvuddeko ggwe Katonda waffe ne tuweereza Babbaali.”+ 11  Awo Yakuwa n’agamba Abayisirayiri nti: “Saabalokola mu mukono gw’Abamisiri+ n’Abaamoli+ n’Abaamoni n’Abafirisuuti+ 12  n’Abasidoni n’Abamaleki n’Abamidiyaani bwe baali nga babanyigiriza? Bwe mwankaabirira, nnabalokola mu mukono gwabwe. 13  Naye mmwe munvuddeko ne muweereza bakatonda abalala.+ Eyo ye nsonga lwaki sijja kuddamu kubalokola.+ 14  Mugende mukoowoole bakatonda be mwalonda, babayambe;+ be baba babalokola mu nnaku yammwe.”+ 15  Naye Abayisirayiri ne bagamba Yakuwa nti: “Twonoonye. Tukole kyonna ky’oyagala. Tukwegayiridde tununule olwa leero.” 16  Awo ne beggyako bakatonda abalala ne baweereza Yakuwa,+ n’aba nga takyasobola kugumiikiriza kubonaabona kwa Isirayiri.+ 17  Awo Abaamoni+ ne bakuŋŋaana wamu ne beeteekerateekera olutalo mu Gireyaadi. N’Abayisirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne beeteekerateekera olutalo mu Mizupa. 18  Abantu n’abaami ba Gireyaadi ne beebuuzaganya nti: “Ani anaatukulemberamu okulwanyisa Abaamoni?+ Oyo y’anaabeera omukulu w’abatuuze b’omu Gireyaadi bonna.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Busuuli.”