Ekyabalamuzi 20:1-48

  • Okulwanyisa Ababenyamini (1-48)

20  Awo Abayisirayiri bonna okuva e Ddaani+ okutuuka e Beeru-seba n’okuva mu nsi ya Gireyaadi+ ne bajja; ekibiina kyonna ne kikuŋŋaana wamu mu maaso ga Yakuwa e Mizupa,+ nga bonna bassa kimu.*  Abaami b’abantu era ab’ebika byonna ebya Isirayiri ne bayimirira mu kibiina ky’abantu ba Katonda—abalwanyi 400,000 abatambuza ebigere nga bakutte ebitala.+  Ababenyamini ne bawulira nti abasajja ba Isirayiri baali bagenze e Mizupa. Abasajja ba Isirayiri ne bagamba nti: “Mutubuulire, ekintu kino ekibi kyajja kitya?”+  Awo omusajja Omuleevi,+ bba w’omukazi eyattibwa, n’agamba nti: “Nnagenda okusula mu Gibeya+ ekya Benyamini nga ndi wamu n’omuzaana wange.  Abatuuze* b’omu Gibeya ne bajja ne bannumba, ne beetooloola ennyumba mwe nnali ekiro. Baali baagala kutta nze, naye ne basobya ku muzaana wange era n’afa.+  Bwe ntyo ne nkwata omulambo gw’omuzaana wange ne ngusalaasalamu ebitundu ne mbiweereza mu bitundu byonna eby’obusika bwa Isirayiri,+ kubanga baakola mu Isirayiri ekintu eky’obuswavu era ekiweebuula.  Kaakano mmwe mmwenna abantu ba Isirayiri, muteese era mubeeko amagezi ge muwa.”+  Awo abantu bonna ne basituka nga bonna bassa kimu* ne bagamba nti: “Tewali n’omu ku ffe ajja kugenda mu weema ye oba okuddayo mu nnyumba ye.  Kino kye tugenda okukola Gibeya. Tugenda kukuba akalulu tukirumbe.+ 10  Ku basajja 100 tujja kuggyako 10 mu bika byonna ebya Isirayiri, era ku basajja 1,000 tujja kuggyako 100, ate ku basajja 10,000 tuggyeko 1,000, bafunire abalwanyi bye beetaaga basobole okugenda okulwanyisa Gibeya ekya Benyamini olw’ekintu eky’obuswavu kye baakola mu Isirayiri.” 11  Bwe batyo abasajja ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaana wamu nga bonna bassa kimu* okulwanyisa ekibuga, nga beegasse. 12  Awo ebika bya Isirayiri ne bituma abasajja eri abantu bonna ab’ekika kya Benyamini nga bigamba nti: “Kintu ki kino ekibi ekyakolebwa mu mmwe? 13  Kaakano muweeyo abasajja abatalina mugaso abali mu Gibeya+ tubatte, tuggyewo ekibi mu Isirayiri.”+ Naye Ababenyamini ne bagaana okuwuliriza baganda baabwe Abayisirayiri. 14  Ababenyamini ne bava mu bibuga ne bakuŋŋaanira mu Gibeya okugenda okulwana n’abasajja ba Isirayiri. 15  Ku lunaku olwo Ababenyamini ne bakuŋŋaana wamu okuva mu bibuga byabwe, abasajja 26,000 nga bakutte ebitala, nga tobaliddeeko abalwanyi abakugu 700 ab’omu Gibeya. 16  Mu ggye lino mwalimu abalwanyi abakugu 700 abaali aba kkono. Buli omu ku bo yali asobola okukozesa envuumuulo n’akuba n’akantu akenkana ng’oluviiri. 17  Abasajja ba Isirayiri, ng’oggyeeko Ababenyamini, baakuŋŋaanya wamu abasajja 400,000 nga bakutte ebitala.+ Buli omu ku bo yalina obumanyirivu mu kulwana. 18  Awo ne basituka ne bagenda e Beseri okwebuuza ku Katonda.+ Abantu ba Isirayiri ne bagamba nti: “Ani ku ffe aba akulemberamu okugenda okulwanyisa Ababenyamini?” Yakuwa n’agamba nti: “Yuda y’aba abakulemberamu.” 19  Awo Abayisirayiri ne basituka ku makya ne basiisira okulwanyisa Gibeya. 20  Abasajja ba Isirayiri ne bagenda okulwana ne Benyamini; ne basimba ennyiriri okulwana nabo e Gibeya. 21  Ababenyamini ne bava mu Gibeya, ku lunaku olwo ne batta abasajja ba Isirayiri 22,000. 22  Kyokka eggye ly’abasajja ba Isirayiri ne lyoleka obuvumu, ne baddayo nate ne basimba ennyiriri okulwana mu kifo we baasimba ku lunaku olwasooka. 23  Awo Abayisirayiri ne bagenda ne bakaabira mu maaso ga Yakuwa okutuusa akawungeezi, ne beebuuza ku Yakuwa nga bagamba nti: “Tuddeyo nate okulwanyisa baganda baffe, abantu ba Benyamini?”+ Yakuwa n’addamu nti: “Mugende mubalwanyise.” 24  Awo Abayisirayiri ne basemberera Ababenyamini ku lunaku olw’okubiri. 25  Ababenyamini nabo ne bava e Gibeya okubaŋŋanga ku lunaku olw’okubiri, ne batta Abayisirayiri abalala 18,000,+ bonna nga bakutte ebitala. 26  Awo abasajja ba Isirayiri bonna ne bagenda e Beseri. Baakaaba, ne batuula eyo mu maaso ga Yakuwa,+ ne basiiba+ ku lunaku olwo okutuusa akawungeezi, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa+ n’ebiweebwayo eby’emirembe+ mu maaso ga Yakuwa. 27  Oluvannyuma lw’ebyo abasajja ba Isirayiri ne beebuuza ku Yakuwa,+ kubanga mu kiseera ekyo essanduuko y’endagaano ya Katonda ow’amazima eyo gye yali ebeera. 28  Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni ye yali aweereza* mu maaso gaayo mu kiseera ekyo. Awo ne babuuza nti: “Tuddeyo nate okulwanyisa baganda baffe, abasajja ba Benyamini, oba tetuddayo?”+ Yakuwa n’addamu nti: “Mugende, kubanga enkya nja kubawaayo mu mukono gwammwe.” 29  Awo Isirayiri n’ateekawo abasajja okuteega+ ku njuyi zonna eza Gibeya. 30  Abayisirayiri ne bagenda okulwanyisa Ababenyamini ku lunaku olw’okusatu, era ne basimba ennyiriri okulwanyisa Gibeya nga bwe baali bakoze ku mirundi emirala.+ 31  Ababenyamini bwe baafuluma okwaŋŋanga eggye, ne basendebwasendebwa okwesuula ekibuga.+ Nga bwe baali bakoze ku mirundi emirala, baalumba era ne batta abamu ku bantu mu nguudo ennene, ng’olumu ku zo lugenda Beseri n’olulala nga lugenda Gibeya, ne baleka abasajja ba Isirayiri ng’amakumi asatu nga bagudde ku ttale bafudde.+ 32  Awo Ababenyamini ne bagamba nti: “Tubawangudde nga bwe twabawangula ku mirundi giri.”+ Naye Abayisirayiri ne bagamba nti: “Tudduke tubasendesende beesuule ekibuga badde mu nguudo ennene.” 33  Abasajja ba Isirayiri bonna ne basituka okuva gye baali ne basimba ennyiriri okulwana e Bbaali-tamali, ate Abayisirayiri abalala abaali bateeze ne bafubutuka gye baali okumpi ne Gibeya. 34  Awo abalwanyi abakugu 10,000 okuva mu Isirayiri yonna ne bagenda mu maaso ga Gibeya, era olutalo ne lunyiinyiitira. Naye Ababenyamini baali tebamanyi nti akabi kaali kaboolekedde. 35  Yakuwa n’awangula Benyamini+ mu maaso ga Isirayiri, era ku lunaku olwo Abayisirayiri ne batta mu Benyamini abasajja 25,100, nga bonna balina ebitala.+ 36  Kyokka abasajja ba Isirayiri bwe badduka Ababenyamini, Ababenyamini baalowooza nti baali bagenda kubawangula.+ Naye Abayisirayiri badduka lwa kuba nti baali beesiga abasajja be baali bataddewo okuteega Gibeya.+ 37  Abasajja abaali bateeze baasitukiramu ne bafubutuka okwolekera Gibeya. Ne basaasaana wonna, ne batta ab’omu kibuga bonna n’ekitala. 38  Abasajja ba Isirayiri baali bateesezza nti abasajja abaali bateeze banyoose omukka okuva mu kibuga gube akabonero gye bali. 39  Abayisirayiri abaali balwana bwe baakyuka ne badduka, abasajja ba Benyamini ne balumba abasajja ba Isirayiri+ ne battako nga 30, ne bagamba nti: “Awatali kubuusabuusa tubawangudde nga bwe twabawangula mu kulwana okwasooka.”+ 40  Naye ekikka ekikutte ne kitandika okunyooka okuva mu kibuga, era ekikka ekyo kaali kabonero. Abasajja ba Benyamini bwe baakyuka okutunula emabega, ne balaba ng’ekibuga kyonna kituntumuka, ng’omuliro gwambuka waggulu. 41  Awo abasajja ba Isirayiri ne bakyuka; abasajja ba Benyamini ne basoberwa kubanga baalaba ng’akabi kabatuuseeko. 42  Awo ne badduka abasajja ba Isirayiri ne boolekera eddungu, naye olutalo ne lubagoberera; era abasajja ba Isirayiri abaava mu kibuga ne beegatta ku bannaabwe ne babalwanyisa ne babatta. 43  Ne bazingiza Ababenyamini, ne babawondera obutabaganya kubaako we bawummulira. Ne babalinnyirira okutuukira ddala mu maaso ga Gibeya, ku luuyi olw’ebuvanjuba. 44  Abasajja ba Benyamini 18,000 be baafa, era bonna baali balwanyi bazira.+ 45  Abasajja ba Benyamini ne baddukira mu ddungu ne bagenda ku lwazi lwa Limmoni.+ Abayisirayiri ne battako abasajja 5,000 ku nguudo; ne beeyongera okubawondera okutuukira ddala e Gidomu, ne battako abasajja abalala 2,000. 46  Ababenyamini bonna abaafa ku lunaku olwo baali abasajja 25,000; baalina ebitala+ era nga bonna balwanyi bazira. 47  Naye abasajja 600 ne baddukira mu ddungu ne bagenda ku lwazi lwa Limmoni. Ne babeera eyo ku lwazi lwa Limmoni okumala emyezi ena. 48  Awo abasajja ba Isirayiri ne bakomawo okulwanyisa Ababenyamini, ne batta ab’omu kibuga n’ekitala, abantu n’ensolo, buli kyonna ekyali kisigadde. N’ebibuga byonna bye baasanga ne babyokya omuliro.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “nga bonna bali omuntu omu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Bannannyini ttaka.”
Obut., “nga bonna bali omuntu omu.”
Obut., “nga bonna bali omuntu omu.”
Obut., “ayimirira.”