Ekyabalamuzi 9:1-57
9 Bwe waayitawo ekiseera, Abimereki+ mutabani wa Yerubbaali yagenda e Sekemu eri bannyina ba maama we n’ab’ennyumba ya jjajjaawe* bonna n’abagamba nti:
2 “Mbeegayiridde mubuuze abakulembeze* b’omu Sekemu bonna nti, ‘Kiki ekisinga obulungi gye muli, batabani ba Yerubbaali+ bonna ensanvu okubafuga, oba omusajja omu okubafuga? Era mukijjukire nti ndi ggumba lyammwe era mubiri gwammwe.’”*
3 Awo bannyina ba maama we ne bamwogererayo ebigambo ebyo eri abakulembeze b’omu Sekemu bonna, emitima gyabwe ne gyekubiira eri Abimereki, kubanga baagamba nti: “Muganda waffe.”
4 Ne bawa Abimereki ebitundu bya ffeeza 70 okuva mu nnyumba* ya Bbaali-berisi,+ n’abiwa abasajja abaali batalina bye bakola era abatawa balala kitiibwa basobole okumugoberera.
5 Oluvannyuma n’agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula+ n’atta baganda be,+ batabani ba Yerubbaali 70, era bonna yabattira ku jjinja limu. Yosamu mutabani wa Yerubbaali eyali asembayo obuto ye yawonawo yekka, kubanga yeekweka.
6 Awo abakulembeze b’omu Sekemu bonna ne Besu-miiro yenna ne bakuŋŋaana ne bafuula Abimereki kabaka,+ nga bali kumpi n’omuti omunene era n’empagi eyali mu Sekemu.
7 Ekyo bwe baakibuulira Yosamu, amangu ago n’agenda n’ayimirira ku ntikko y’Olusozi Gerizimu+ n’ayimusa eddoboozi lye n’abagamba nti: “Mumpulirize mmwe abakulembeze b’omu Sekemu, ne Katonda alyoke abawulire:
8 “Olwatuuka emiti ne gigenda okulonda* kabaka okugifuga. Ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Tufuge.’+
9 Naye omuzeyituuni ne gugigamba nti, ‘Ndeke amafuta gange amalungi ge bakozesa okugulumiza Katonda n’abantu ŋŋende nneewuubirewuubire waggulu w’emiti emirala?’
10 Awo emiti ne gigamba omutiini nti, ‘Jjangu otufuge.’
11 Naye omutiini ne gugigamba nti, ‘Ndeke ebibala byange ebiwooma ŋŋende nneewuubirewuubire waggulu w’emiti emirala?’
12 Awo emiti ne gigamba omuzabbibu nti, ‘Jjangu otufuge.’
13 Omuzabbibu ne gugigamba nti, ‘Ndeke omwenge gwange omusu ogusanyusa Katonda n’abantu ŋŋende nneewuubirewuubire waggulu w’emiti emirala?’
14 Ku nkomerero emiti gyonna ne gigamba akati k’amaggwa nti, ‘Jjangu otufuge.’+
15 Awo akati k’amaggwa ne kagamba emiti nti, ‘Bwe muba nga ddala munnonze okuba kabaka wammwe, mujje mwewogome wansi w’ekisiikirize kyange. Naye bwe kiba nga si bwe kiri, omuliro ka guve mu kati k’amaggwa gwokye emiti gy’entolokyo egy’omu Lebanooni.’
16 “Naye ddala kye mukoze kya mazima era kiweesa ekitiibwa okufuula Abimereki kabaka,+ era Yerubbaali n’ab’ennyumba ye mubakoledde ebirungi, era mumukoledde ekyo ekimugwanira?
17 Kitange bwe yabalwanirira,+ yateeka obulamu bwe mu kabi asobole okubanunula mu mukono gwa Midiyaani.+
18 Kyokka leero mwefuulidde ab’ennyumba ya kitange, ne muttira batabani be, abasajja 70, ku jjinja limu,+ ne mufuula Abimereki omwana w’omuzaana we+ okuba kabaka w’abakulembeze b’omu Sekemu olw’okuba muganda wammwe.
19 Kale bwe kiba nga kye mukoledde Yerubbaali n’ab’ennyumba ye leero kya mazima era nga kibaweesa ekitiibwa, mujaguze olwa Abimereki era naye ajaguze ku lwammwe.
20 Naye bwe kiba nga si bwe kiri, omuliro ka guve mu Abimereki gwokye abakulembeze b’omu Sekemu ne Besu-miiro,+ era omuliro ka guve mu bakulembeze b’omu Sekemu ne Besu-miiro gwokye Abimereki.”+
21 Awo Yosamu+ n’adduka n’agenda e Beeri, n’abeera eyo olw’okutya muganda we Abimereki.
22 Abimereki yafuga Isirayiri okumala emyaka esatu.
23 Awo Katonda n’aleetawo obukyayi* wakati wa Abimereki n’abakulembeze b’omu Sekemu, abakulembeze b’omu Sekemu ne bakolera Abimereki olukwe.
24 Ekyo kyali bwe kityo ettemu eryakolebwa ku batabani ba Yerubbaali ensanvu lisobole okusasulirwa, era omusaayi gwabwe gusobole okubeera ku Abimereki muganda waabwe olw’okuba yabatta,+ era gusobole okubeera ne ku bakulembeze b’omu Sekemu olw’okuba baamuyamba okutta baganda be.
25 Awo abakulembeze b’omu Sekemu ne bassaawo abasajja okumuteega ku ntikko z’ensozi, ne banyaganga buli eyabayitangako ku luguudo. Kino oluvannyuma kyategeezebwa Abimereki.
26 Awo Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be ne bajja mu Sekemu,+ abatuuze b’omu Sekemu ne bamussaamu obwesige.
27 Ne bagenda mu nnimiro ne bakungula ezzabbibu ly’omu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu, ne balisogolamu omwenge ne bakola embaga, oluvannyuma ne bagenda mu nnyumba ya katonda waabwe+ ne balya ne banywa ne bakolimira Abimereki.
28 Gaali mutabani wa Ebedi n’agamba nti: “Abimereki y’ani, era Sekemu y’ani ffe okumuweereza? Si mutabani wa Yerubbaali,+ era Zebbuli si mukungu we? Muweereze abasajja ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu! Naye ffe lwaki tumuweereza?
29 Singa abantu bano nze mbadde mbalinako obuyinza, nnandiggyeeko Abimereki.” Awo n’agamba Abimereki nti: “Eggye lyo lyongeremu abalwanyi ofulume tulwane.”
30 Zebbuli omukulu w’ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, obusungu bwe ne bubuubuuka.
31 N’atuma ababaka eri Abimereki mu kyama* okumugamba nti: “Laba! Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be bali mu Sekemu era bakunga ab’omu kibuga okukulwanyisa.
32 Kale jjangu ekiro, ggwe n’abantu abali naawe, muteege ku ttale.
33 Ku makya ng’enjuba yaakavaayo ojja kusituka olumbe ekibuga; era ye n’abantu abali naye bwe banaafuluma okukulwanyisa, ojja kukola kyonna ky’osobola okumuwangula.”*
34 Awo Abimereki n’abantu bonna abaali naye ne basituka ekiro ne bateegera ebweru wa Sekemu nga beeyawuddemu ebibinja bina.
35 Gaali mutabani wa Ebedi bwe yafuluma n’ayimirira ku mulyango gw’ekibuga, Abimereki n’abantu abaali naye ne basituka okuva gye baali bateegedde.
36 Gaali bwe yalaba abantu, n’agamba Zebbuli nti: “Laba! Abantu baserengeta nga bava ku ntikko z’ensozi.” Naye Zebbuli n’amugamba nti: “Ebisiikirize by’ensozi by’olaba ng’ebifaanana abantu.”
37 Oluvannyuma Gaali yagamba nti: “Laba! Abantu bava mu masekkati g’ensi, era ekibinja ekimu kiyise mu kkubo eriyita ku muti omunene ogw’Abameyoneni.”
38 Awo Zebbuli n’amugamba nti: “Weerabidde kye wagamba nti, ‘Abimereki y’ani ffe okumuweereza?’+ Bano si be bantu be wayogerako obubi? Kaakano genda obalwanyise.”
39 Awo Gaali n’akulemberamu abakulembeze b’omu Sekemu n’alwanyisa Abimereki.
40 Abimereki n’agoba Gaali, Gaali n’amuddukako, abattibwa ne bagwa bangi okutuukira ddala ku mulyango gw’ekibuga.
41 Abimereki ne yeeyongera okubeera mu Aluma, era Zebbuli+ n’agoba Gaali ne baganda be mu Sekemu.
42 Ku lunaku olwaddako abantu ne bagenda ku ttale, era ekyo ne bakibuulira Abimereki.
43 Awo n’atwala abantu n’abagabanyaamu ebibinja bisatu, n’ateega ku ttale. Bwe yalaba abantu nga bafuluma mu kibuga n’abalumba n’abatta.
44 Abimereki n’ebibinja ebyali naye ne bafubutuka ne bagenda ne bayimirira ku mulyango gw’ekibuga, ate bo abaali mu bibinja ebibiri ne balumba abo bonna abaali ku ttale, ne babatta.
45 Abimereki n’alwanyisa ekibuga olunaku olwo lwonna era n’akiwamba, n’atta abantu abaakirimu, oluvannyuma n’akimenyaamenya+ n’akiyiwamu omunnyo.
46 Abakulembeze bonna ab’oku munaala gw’e Sekemu olwakiwulira ne bagenda mu kisenge ekyekwekebwamu* eky’oku nnyumba* ya Eru-berisi.+
47 Abimereki olwali okutegeezebwa nti abakulembeze b’oku munaala gw’e Sekemu bonna baali bakuŋŋaanye wamu,
48 n’ayambuka ku Lusozi Zalumoni n’abantu bonna abaali naye. Abimereki n’akwata embazzi mu mukono gwe n’atema ettabi ly’omuti n’alisitula n’aliteeka ku kibegaabega kye, n’agamba abantu abaali naye nti: “Kye mulabye nkola, nammwe mwanguwe mukikole!”
49 Abantu bonna ne batema amatabi ne bagoberera Abimereki. Ne bateeka amatabi ku kisenge ekyekwekebwamu ne bakikumako omuliro, abantu bonna abaabeeranga mu munaala gw’e Sekemu ne bafa, abasajja n’abakazi nga 1000.
50 Abimereki n’agenda e Sebezi n’akirwanyisa n’akiwamba.
51 Mu kibuga ekyo wakati mwalimu omunaala omugumu, abasajja bonna n’abakazi n’abakulembeze b’omu kibuga bonna ne baddukira omwo, ne beggaliramu ne bagenda waggulu ku kasolya k’omunaala.
52 Abimereki n’agenda ku munaala n’agulwanyisa, era n’asembera ku mulyango gw’omunaala okugwokya omuliro.
53 Ne wabaawo omukazi eyasuula enso ku mutwe gwa Abimereki n’emwasa akawanga.+
54 Amangu ago Abimereki n’ayita omuweereza we eyali akutte eby’okulwanyisa bye n’amugamba nti: “Sowolayo ekitala kyo onzite, baleme kunjogerako nti, ‘Omukazi ye yamutta.’” Awo omuweereza we n’amufumita n’afa.
55 Abasajja ba Isirayiri bwe baalaba nga Abimereki afudde, buli omu n’addayo ewuwe.
56 Bw’atyo Katonda n’asasula Abimereki ebintu ebibi bye yakola kitaawe, bwe yatta baganda be 70.+
57 N’ebintu ebibi byonna abantu b’omu Sekemu bye baakola, Katonda yabikomyawo ku mitwe gyabwe, ekikolimo kya Yosamu+ mutabani wa Yerubbaali+ ne kituukirira ku bo.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ab’oluggya lw’ennyumba ya taata wa maama we.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “bannannyini ttaka.”
^ Oba, “mbalinako oluganda olw’omusaayi.”
^ Oba, “yeekaalu.”
^ Obut., “okufuka amafuta ku.”
^ Obut., “n’asindika omwoyo omubi.”
^ Oba, “mu lukujjukujju.”
^ Oba, “mukole kyonna omukono gwo kye gusobola.”
^ Oba, “mu kigo.”
^ Oba, “yeekaalu.”