Ekyamateeka 2:1-37
2 “Awo ne tukyuka ne tugenda mu ddungu nga tuyita mu kkubo erigenda ku Nnyanja Emmyufu nga Yakuwa bwe yaŋŋamba,+ era twamala ennaku nnyingi nga twetooloolera okumpi n’Olusozi Seyiri.
2 Oluvannyuma Yakuwa yaŋŋamba nti,
3 ‘Mumaze ekiseera kiwanvu nga mwetooloolera okumpi n’olusozi luno. Kaakano mukyuke mugende ku ludda olw’ebukiikakkono.
4 Lagira abantu nti: “Mugenda kuyita ku nsalo ya baganda bammwe bazzukulu ba Esawu+ ababeera mu Seyiri;+ bajja kubatya,+ era mwegendereze nnyo.
5 Temulwana nabo,* kubanga sijja kubawa ku nsi yaabwe wadde akatundu akenkana ekigere, kubanga Olusozi Seyiri nnaluwa Esawu okuba omugabo gwe.+
6 Emmere gye munaalya mujja kugibagulako, era n’amazzi ge munaanywa mujja kugabagulako.+
7 Yakuwa Katonda wo akuwadde omukisa mu byonna by’okoze. Amanyi bulungi okutambula kwo mu ddungu lino eddene. Yakuwa Katonda wo abadde naawe emyaka gino 40 era obadde tojula kintu kyonna.”’+
8 Bwe tutyo twatambula ne tuyita okumpi ne baganda baffe bazzukulu ba Esawu+ ababeera mu Seyiri, naye tetwayita mu kkubo eridda mu Alaba, ne Erasi, ne Eziyoni-geberi.+
“Oluvannyuma twakyuka ne tuyita mu kkubo erigenda mu ddungu lya Mowaabu.+
9 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Toba na kakuubagano konna na Mowaabu era tolwana naye kubanga sijja kukuwa kitundu na kimu ku nsi ye okuba omugabo gwo, kubanga bazzukulu ba Lutti+ nnabawa Ali okuba omugabo gwabwe.
10 (Edda omwo mwabeerangamu Abeemi+ abaali eggwanga ery’amaanyi, eddene, era nga bawanvu ng’Abaanaki.
11 Abaleefa+ nabo baali batwalibwa ng’Abaanaki,+ era Abamowaabu baabayitanga Beemi.
12 Mu biseera eby’edda Abakooli+ be baabeeranga mu Seyiri, naye bazzukulu ba Esawu baabatwalako ensi yaabwe era ne babazikiriza, ne badda mu kifo kyabwe,+ nga ne Isirayiri bw’ajja okukola ensi ey’omugabo gwe Yakuwa gy’agenda okubawa.)
13 Kale kaakano mugende musomoke Ekiwonvu Zeredi.’ Bwe tutyo twasomoka Ekiwonvu Zeredi.+
14 Ekiseera kye twamala nga tutambula okuva e Kadesi-baneya okutuusa lwe twasomoka Ekiwonvu Zeredi gyali emyaka 38, okutuusa omulembe gwonna ogw’abasajja abalwanyi lwe gwaggwaawo mu lusiisira, nga Yakuwa bwe yabalayirira.+
15 Era omukono gwa Yakuwa gwabalwanyisa okubamalawo mu lusiisira okutuusa lwe baggwaawo.+
16 “Abasajja bonna abalwanyi olwamala okufa ne baggwaawo,+
17 Yakuwa n’ayogera nange n’agamba nti,
18 ‘Olwa leero ogenda kuyita kumpi n’ensi ya Mowaabu, kwe kugamba, okumpi ne Ali.
19 Bw’onoosembera okumpi n’Abaamoni, tobatawaanya era tobasosonkereza, kubanga sijja kukuwa kitundu na kimu ku nsi y’Abaamoni okuba omugabo gwo, kubanga nnagiwa bazzukulu ba Lutti okuba omugabo gwabwe.+
20 Eno nayo yali emanyiddwa ng’ensi y’Abaleefa.+ (Edda Abaleefa be baagibeerangamu, era Abaamoni baabayitanga Bazamuzumu.
21 Okufaananako Abaanaki,+ baali bantu ba maanyi, nga bangi nnyo, era nga bawanvu; naye Yakuwa yabazikiriza mu maaso g’Abaamoni, Abaamoni ne babagobamu, ne badda mu kifo kyabwe.
22 Era ekyo kye yakolera ne bazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri,+ bwe yazikiriza Abakooli+ mu maaso gaabwe bwe batyo ne basobola okubagobamu, ne badda mu kifo kyabwe n’okutuusa leero.
23 Ate Abaavi baabeeranga mu byalo okutuukira ddala e Gaaza+ okutuusa Abakafutoli,+ abaava mu Kafutoli* bwe baabazikiriza ne badda mu kifo kyabwe.)
24 “‘Musituke mugende musomoke Ekiwonvu Alunoni.+ Laba, Sikoni+ kabaka wa Kesuboni Omwamoli mmuwaddeyo mu mukono gwammwe. Mutandike okutwala ensi ye era mumulwanyise.
25 Leero ŋŋenda kutandika okuleetera abantu bonna abali wansi w’eggulu abanaawulira ebibakwatako okutekemuka n’okutya. Mujja kubaleetera okutabulwatabulwa era bajja kukankana.’*+
26 “Oluvannyuma nnatuma ababaka okuva mu ddungu lya Kedemosi+ okugenda eri Kabaka Sikoni owa Kesuboni bamugambe ebigambo bino eby’emirembe:+
27 ‘Nzikiriza mpite mu nsi yo. Nja kutambulira mu luguudo mwokka. Sijja kukyama ku ddyo oba ku kkono.+
28 Emmere gy’ononguza gye nnaalya, n’amazzi g’ononguza ge nnaanywa. Nzikiriza mpitemu buyisi ku bigere,
29 —ekyo bazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri n’Abamowaabu ababeera mu Ali kye bankolera—okutuusa lwe nnaasomoka Yoludaani ne ntuuka mu nsi Yakuwa Katonda waffe gy’agenda okutuwa.’
30 Naye Sikoni kabaka wa Kesuboni teyatukkiriza kuyita mu nsi ye, kubanga Yakuwa Katonda wo yamuleka n’awaganyala+ era n’omutima gwe ne gukakanyala asobole okumuwaayo mu mukono gwo nga bwe kiri leero.+
31 “Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti, ‘Laba, ntandise okukugabula Sikoni n’ensi ye. Tandika okutwala ensi ye.’+
32 Sikoni bwe yafuluma n’abantu be bonna okutwaŋŋanga mu lutalo e Yakazi,+
33 Yakuwa Katonda waffe n’amutugabula ne tumuwangula ye ne batabani be n’abantu be bonna.
34 Mu kiseera ekyo twawamba ebibuga bye byonna era ne tuzikiriza ebibuga byonna, n’abasajja, n’abakazi, n’abaana. Tewali n’omu gwe twalekawo.+
35 Ensolo zokka ze twatwala ng’omunyago awamu n’ebyo bye twaggya mu bibuga bye twawamba.
36 Okuva e Aloweri+ ekiri ku mabbali g’Ekiwonvu Alunoni, (ng’otwaliddemu n’ekibuga ekiri mu kiwonvu ekyo), okutuuka e Gireyaadi, tewali kabuga konna akaatulema okuwamba. Byonna Yakuwa Katonda waffe yabitugabula.+
37 Naye temwasemberera nsi y’Abaamoni,+ kwe kugamba, ebitundu byonna ebiriraanye Ekiwonvu Yabboki,+ n’ebibuga eby’omu kitundu eky’ensozi, oba ekitundu ekirala kyonna Yakuwa Katonda waffe kye yatugaana okugendamu.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Temubasosonkereza.”
^ Kwe kugamba, Kuleete.
^ Oba, “bajja kubeera n’obulumi ng’obw’omukazi azaala.”