Ekyamateeka 25:1-19

  • Amateeka ku kukubwa kibooko (1-3)

  • Tosibanga mumwa gwa nte ng’ewuula (4)

  • Okuwasa muka muganda wo (5-10)

  • Okukwata ebitundu eby’ekyama eby’abo ababa balwana (11, 12)

  • Ebipimo ebituufu (13-16)

  • Abamaleki balina okuzikirizibwa (17-19)

25  “Abantu bwe banaabanga n’enkaayana banaagenda eri abalamuzi,+ era abalamuzi banaabalamulanga ne balaga nti omutuukirivu taliiko musango, ate nti omubi aliko omusango.+  Omubi bw’anaabanga agwanira okukubibwa,+ omulamuzi anaamugalamizanga ne bamukubira mu maaso ge. Embooko z’anaakubibwanga zinaasinziiranga ku bubi bw’ekyo ky’anaabanga akoze.  Ayinza okumukuba embooko 40+ naye tasussangamu. Singa amukuba embooko ezisukka ku ezo, muganda wo anaabanga aweebuddwa mu maaso go.  “Tosibanga mumwa gwa nte ng’ewuula.+  “Ab’oluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu ku bo n’afa nga tazadde mwana wa bulenzi, nnamwandu w’omusajja oyo tafumbirwanga omusajja atalina luganda ku mufu. Muganda wa bba anaagendanga gy’ali n’amuwasa, n’atuukiriza ekyo muganda wa bba ky’asaanidde okukola.+  Omwana omukazi oyo gw’anaasookanga okuzaala anaatwalibwanga ng’omwana wa bba eyafa,+ erinnya ly’omusajja oyo lireme kusaanawo mu Isirayiri.+  “Naye singa omusajja anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu anaagendanga eri abakadde ku mulyango gw’ekibuga n’abagamba nti, ‘Muganda wa baze agaanye okukuuma erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Takkirizza kumpasa atuukirize ekyo muganda wa baze ky’asaanidde okukola.’  Abakadde b’ekibuga kye banaamuyitanga ne boogera naye. Naye singa anaakalambiranga n’agamba nti, ‘Saagala kumuwasa,’  awo nnamwandu wa muganda we anajjanga w’ali mu maaso g’abakadde n’amuggyamu engatto mu kigere+ n’amuwandulira amalusu mu maaso era n’agamba nti, ‘Omusajja agaana okuzaalira muganda we omwana bw’atyo bw’anaayisibwanga.’ 10  Awo ennyumba ye* mu Isirayiri eneeyitibwanga, ‘Ennyumba y’oyo gwe baggyamu engatto.’ 11  “Abasajja bwe babanga balwana, mukazi w’omu ku bo n’ajja okutaasa bba ku oyo anaabanga amukuba, n’agolola omukono gwe n’amukwata ebitundu bye eby’ekyama, 12  omukazi oyo omutemangako omukono. Tomusaasiranga.* 13  “Tobeeranga n’amayinja ag’okupimisa ag’emirundi ebiri mu nsawo yo,+ eddene n’ettono. 14  Tobeeranga na bigera bya mirundi ebiri mu nnyumba yo,*+ ekinene n’ekitono. 15  Obeeranga n’amayinja ag’okupimisa amatuufu era n’ekigera ekituufu, olyoke owangaale mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa.+ 16  Kubanga buli muntu atali mwenkanya era akola ebintu ng’ebyo, Yakuwa Katonda wo amukyayira ddala.+ 17  “Jjukiranga ekyo Amaleki kye yakukola bwe mwali ku lugendo nga muva e Misiri,+ 18  bwe yakulumba mu kkubo n’atta abo bonna abaali basembyeyo emabega nga bajja batambula mpolampola, bwe wali ng’okooye nnyo era ng’oweddemu amaanyi. Teyatya Katonda. 19  Yakuwa Katonda wo bw’alikuwa ekiwummulo ng’akuwonyezza abalabe bo bonna abakwetoolodde mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa ng’obusika,+ osaanyangawo Amaleki, aleme kujjukirwa wansi w’eggulu.+ Teweerabiranga.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “erinnya lye.”
Obut., “eriiso lyo terimusaasiranga.”
Obut., “efa ne efa mu nnyumba yo.” Laba Ebyong. B14.