Ekyamateeka 29:1-29
29 Bino bye bigambo by’endagaano Yakuwa gye yalagira Musa okukola n’abantu ba Isirayiri mu nsi ya Mowaabu, okwongereza ku ndagaano gye yakola nabo ku Kolebu.+
2 Awo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti: “Mwalaba ebyo byonna Yakuwa bye yakola mu maaso gammwe mu nsi ya Misiri ku Falaawo ne ku baweereza be bonna era ne ku nsi ye yonna,+
3 ebigezo eby’amaanyi amaaso gammwe bye gaalaba, obubonero n’ebyamagero eby’ekitalo.+
4 Naye n’okutuusa leero+ Yakuwa tabawadde mutima gutegeera wadde amaaso agalaba wadde amatu agawulira.
5 ‘Emyaka 40 gye mmaze nga mbakulembera mu ddungu,+ ebyambalo byammwe tebikaddiye n’engatto zammwe tezikaddiyidde mu bigere byammwe.+
6 Temulidde migaati wadde okunywa envinnyo oba omwenge omulala gwonna, musobole okumanya nti nze Yakuwa Katonda wammwe.’
7 Kyaddaaki mwatuuka mu kifo kino era Sikoni kabaka w’e Kesuboni+ ne Ogi kabaka wa Basani+ ne bajja okutulwanyisa naye ne tubawangula.+
8 Oluvannyuma twatwala ensi yaabwe ne tugiwa Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika ky’Abamanase+ okuba obusika.
9 Kale mukwatenga ebigambo by’endagaano eno era mubigonderenga, byonna bye munaakolanga biryoke bibagendere bulungi.+
10 “Mmwenna muyimiridde mu maaso ga Yakuwa Katonda wammwe leero, abakulu b’ebika byammwe, abakadde bammwe, abaami bammwe, buli musajja mu Isirayiri,
11 abaana bammwe, bakazi bammwe,+ abagwira+ abali mu lusiisira lwammwe, okuva ku oyo abatyabira enku okutuuka ku oyo abakimira amazzi.
12 Muli wano musobole okubeera mu ndagaano ya Yakuwa Katonda wammwe ne mu kirayiro kye, endagaano Yakuwa Katonda wo gy’akola naawe leero;+
13 asobole okubafuula leero eggwanga lye,+ era abeerenga Katonda wammwe+ nga bwe yabasuubiza era nga bwe yalayirira bajjajjammwe, Ibulayimu,+ Isaaka+ ne Yakobo.+
14 “Endagaano eno n’ekirayiro kino sibikola nammwe mmwekka,
15 wabula era n’abo bonna abayimiridde wano naffe leero mu maaso ga Yakuwa Katonda waffe era n’abo abatali wano naffe leero.
16 (Kubanga mumanyi bulungi bwe twabeeranga mu nsi ya Misiri n’engeri gye twayita mu mawanga agatali gamu nga tuli ku lugendo lwaffe.+
17 Mwalaba ebintu byago eby’omuzizo era n’ebifaananyi byago ebyenyinyaza,*+ eby’emiti, n’eby’amayinja, n’ebya ffeeza, n’ebya zzaabu, ebyagalimu.)
18 Mwegendereze waleme kubaawo mu mmwe mutima gwa musajja oba mukazi oba maka oba kika gukyuka leero kuva ku Yakuwa Katonda waffe okugenda okuweereza bakatonda b’amawanga ago;+ waleme okubaawo mu mmwe mulandira ogumerako ekimera eky’obutwa n’omususa.+
19 “Era omuntu bw’anaawulira ebigambo by’ekirayiro kino ne yeenyumiriza mu mutima gwe ng’agamba nti: ‘Nja kuba n’emirembe ne bwe nnaalemera mu makubo g’omutima gwange,’ ekyo ne kyonoona buli kintu ekiri* mu kkubo lye,
20 Yakuwa talimusonyiwa,+ naye obusungu bwa Yakuwa obungi bulimubuubuukira, n’ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino birimutuukako,+ era Yakuwa alisangula erinnya lye wansi w’eggulu.
21 Yakuwa alimwawula ku bika bya Isirayiri byonna okumutuusaako akabi ng’ebikolimo byonna eby’endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky’Amateeka bwe biri.
22 “Omulembe oguliddawo ogw’abaana bammwe n’omugwira aliva mu nsi ey’ewala, bwe baliraba ebibonyoobonyo by’ensi yammwe, ebintu ebibi Yakuwa by’aliba asindise mu nsi eyo—
23 amayinja agookya, omunnyo, n’okwokebwa, ensi yonna n’eba nga tesigibwamu, nga tewali kigirokamu era nga temeraamu bimera, okufaananako okuzikirizibwa kwa Sodomu ne Ggomola,+ Aduma ne Zeboyimu,+ Yakuwa bye yazikiriza mu busungu bwe ne mu kiruyi kye—
24 abaana bo n’omugwira n’amawanga gonna baligamba nti, ‘Lwaki Yakuwa yakola bw’ati ensi eno?+ Obusungu buno bwonna obungi bwava ku ki?’
25 Abantu baligamba nti, ‘Kubanga baamenya endagaano ya Yakuwa+ Katonda wa bajjajjaabwe gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi ya Misiri.+
26 Baagenda ne baweereza bakatonda abalala era ne babavunnamira, bakatonda be baali batamanyi era be yabagaana okusinza.*+
27 Obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira ensi eyo n’agireetako ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo kino.+
28 Yakuwa n’abasimbula ku ttaka lyabwe ng’alina obusungu bungi+ n’ekiruyi, n’abatwala mu nsi endala gye bali leero.’+
29 “Ebintu ebikisiddwa bya Yakuwa Katonda waffe,+ naye ebintu ebibikkuddwa byaffe ne bazzukulu baffe emirembe gyonna, tulyoke tukolerenga ku bigambo byonna eby’Amateeka gano.+